Ebisolo byonoona ebirime era nebikeendereza ddala amakungula g‘omulimi nga bikeendeza ekiffo ebikoola webikolera emmere , okuffa kw‘ekirime, n‘okukula empola.
Wabula wogoberera endagiriro eteekateekeddwa obulungi ey‘okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirimme kiyamba mukuziyiza obulabe obukolebwa obuwuka obwonoona ebirime by‘omulimi olwo nekiviirako okwongera ku makungula okuva mu nnimiro y‘omulimi okugeza amakungula gakawo, soya n‘ebinnyebwa.
Okulwannyisa ebitonde ebyonoona ebirime.
Nga tonaba kusiga ,jjanjaba ensigo ng‘oziteeka mu ddagala erikakkasiddwa mu kulwannyisa obuwuka wabula kinno olina okikola oluvannyuma lw‘okwebuuza ku mulimisa.
Okuziyiza emmese ne kkamujje, olina okutega emitego oba eby‘okulya ebiriko obutwa okwetoloola ennimiro.
Ziyiza obuwuka obwonoona ebirime ng‘osimba embala eziremesa obuwuka bunno.
Kozesa eddagala ng‘okulibwa kw‘ebitonde kususe kubanga kuyinza okuviiirako okufiirizibwa.
Weziba ensiringannyi kyusakyusa ebirime era weyambise enkola y‘okuyonja obuulungi faamu.
N‘ekisembayo,tangira omuddo mu nnimiro kubanga gusobola okukweka ebitonde ebyonoona ebirime.