Enzimba ya ttanka etereka amazzi eya bulijjo

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=xID-zx3FCq8

Ebbanga: 

00:03:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Wessex Water
Egimu ku mirimu gyaffe egy'okubunya amazzi mulimu okuzimba ttanka empya etereka amazzi
Enteekateeka y’okuzimba
Mu kuzimba, emmotoka esima ettaka okutuuka ku buwanvu obwetaagibwa era enkokoto eteekebwawo okukola omusinji gwa ttanka ekigobererwa okujjuza n’ebyuma bya wansi n’enkokoto ne weetooloolwa embaawo. Ebisenge bya ttanka bizimbibwa era enkola y’emu ekozesebwa okuzimba akasolya.
Okufaananako, empiira ziteekebwa ku ttanka era awayita amazzi wateekebwawo wansi wa ttanka era ttanka ejjuzibwa amazzi n’erekebwawo okumala wiiki era nga n’obungi bw’amazzi bukeberwa. Ebisenge by’ebweru bibikkibwako ekibikka ekitayitamu mazzi era n’ejjuzibwa ettaka ku mabbali, ne likkatirwa era akasolya nako kabikkibwako ekibikka ekitayitamu mazzi ekirala.
Ettaka eryetooloddewo lituumibwa okutuuka waggulu wa ttanka era ttanka erongoosebwa n’eteekebwamu eddagala eritta obuwuka olwo n’eba nga etuuse okuyungibwa ku mukutu ogubunya amazzi, amadaala okutuuka kukasolya, emidaala egyetaagisa n’awagenda emmotoka bizimbibwa. Ekikomera kiteekebwawo okwetooloola ekifo era emiti gisimbibwa nga bwe kyetaagisa.
Okwongerako, ebifo ebitereka ebintu, ofiisi n’oluggya biggibwawo era ekisembayo ettaka lya waggulu lizzibwawo era ekifo kyonna kisimbibwamu omuddo.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:20Teeka ekikomera ku kifo era otereeze enguudo.
00:2100:27Ettaka lya waggulu liggibwawo ne literekebwa ku kifo ewakolerwa.
00:2800:34Ofiisi, emmotoka we zigenda n'ebifo ebitereka biteekebwawo okutwaliriza ebbanga erizimbirwamu.
00:3500:40Emmotoka esima ettaka okutuuka ku buwanvu obwetaagibwa.
00:4100:45Enkokoto eteekebwawo okukola omusinji gwa ttanka.
00:4600:57Ebyuma bya wansi bijjuzibwa enkokoto ne weetooloolwa embaawo
00:5801:04Enkokoto ekolebwa nga nzigumivu okukakasa nti temuli nnyingo.
01:0501:22Ebisenge bya ttanka bizimbibwa era enkola y'emu ekozesebwa okuzimba akasolya.
01:2301:34Empiira ziteekebwa ku ttanka era awayita amazzi wateekebwawo wansi wa ttanka
01:3501:57Ttanka ejjuzibwa amazzi n'erekebwawo okumala wiiki era nga n'obungi bw'amazzi bukeberwa.
01:5802:00Ebisenge by'ebweru bibikkibwako ekibikka ekitayitamu mazzi.
02:0102:11Ekifo kijjuzibwa ettaka ku mabbali, ne likkatirwa era akasolya nako kabikkibwako ekibikka ekitayitamu mazzi ekirala.
02:1202:19Ettaka eryetooloddewo lituumibwa okutuuka waggulu wa ttanka.
02:2002:26Ttanka erongoosebwa n'eteekebwamu eddagala eritta obuwuka olwo n'eba nga etuuse okuyungibwa ku mukutu ogubunya amazzi.
02:2702:35Amadaala okutuuka kukasolya, emidaala egyetaagisa n'awagenda emmotoka bizimbibwa.
02:3602:41Ekikomera kiteekebwawo okwetooloola ekifo.
02:4202:50Emiti gisimbibwa nga bwe kyetaagisa.
02:5102:54Ebifo ebitereka ebintu, ofiisi n'oluggya biggibwawo
02:5503:02Ekisembayo ettaka lya waggulu lizzibwawo era ekifo kyonna kisimbibwamu omuddo.
03:0303:09Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *