Engeri omulimu guno gye guli ogwe ttunzi mu bulunzi, obungi n‘omutindo gwe biva mu kulunda embuzi eza Bengal gusinziira ku tekinologiya wa makungula akozeseddwa.
Embuzi za Bengal ziva Bangladesh era zifuna nnyo singa oba ozifuddeko n‘okuzirabirira obulungi mu kulunda.
Endabirira y‘embuzi
Embuzi za Bengal nga bwe ziggumira embeera y‘obudde yonna, zirundibwa mu butono nga ate za kutunda era zirundibwa mu nnunda egwanidde. Okulunda embuzi kuleeta ensimbi, emirimu ate kyetaagisa abakozi batono kuba embuzi za bengal zibeera ntono mu kikula era tezetaaga kuzimbira kwa maanyi.
Mu ngeri y‘emu, kyetaagisa okukola obugazi bwa fuuti 10 ku buli mbuzi ne futi wakati wa 20-25 bwobeera ozimba ennyumba yaazo ey‘omulembe nga eyisa bulungi empewo munda n‘ekikomera ekinywevu okuziyiza ezibiyiganya.Tereka ebintu byonna ebyeyambisibwa mu kuliisa n‘okunywera munda mu nnyumba era oteeketeeke ennyumba ez‘enjawulo mwe zinaayonseza, ezirina eggwako n‘ennume eziwakisa.
Ennyumba erina okuba nga eri waggulu ko ku buwanvu bwa fuuti 4-5 n‘akasolya akaweza obuwanvu bwa fuuti 6-8 nga mulekeddwamu amabanga omunaayita omusulo amangu. Teekako ekiveera mu maddirisa okuziyiza obunyogovu obususse mu mbuzi era kuuma embuzi enzadde n‘omwana waayo obudde obw‘ekiro mu kifo embuzi wezizaalira naddala mu biseera by‘obutiti.
Weyongere okuyonja ennyumba buli ku makya era weewale okumansa ebikyafu era embuzi ziwe emmere erimu ekiriisa ekiri ku mutindo nga omuddo n‘ebirungo zisobole okukula obulungi. Ziwe amazzi amayonjo, era ennume eziwakisa ziteeke zokka n‘ezirina eggwako nga tezinazaala.
Okwongerezaako, obwana bw‘embuzi bulina okuterekebwa mu kifo ekibugguma era obuyonje nga bumaze okuzaalibwa. Akabuzi kawe amata mu ssaawa ntono nga kakazaalibwa okusobola okwongera ku busoboozi bw‘omubiri okulwanyisa obulwadde era kagabirire singa embuzi enzadde eba terina mata gamala.
Mu ku maliriza, gema embuzi era fuba nnyo okukwatagana n‘omusawo w‘ebisolo osobole okuziyiza endwadde ku faamu yo.