Bwokozesa ebigimusa ku musiri gwa kasooli osobola okufuna amakungula .
Nga amakungula ga kasooli wo gali wansi olina omukisa okukozesa ebigimusa okufuna ekingi. Nga okozesa ebigimusa olina okusimba ensigo ntono buli kinya naye nga naye biri kumukumu. Nolwekyo, ebirime bisobola okukozesa ekigimusa , amazzi wamu n’omusana. Ettaka eritarimu obugimu bw’obutonde ligwamu ekigimusa.
Okugaziya amakungula.
Noonya ensingo enungi ezaala enyo, emeruka obulungi era nga emanyira embeera. Ebika bya kasooli ebimu bisobola okuterekebwa ku faamu ate ebirala byo byakugulibwa buli mwaka. Olina okusimba kasooli 80cm wakati wa layini ate 40cm wakati w’ebinya. Simba empeke bbiri buli kinya. Gatamu nakavundira nga ekigumusa, ebisigalira by’ebimera, emwanyi, obukuta oba kalimbwe w’enkoko mu ttaka. Bwonba osobola okukebeza ettaka. Mu naku munana nga omaze okusimba osobola okutandika okiutekamu ebigimusa. Kasooli olwo afubutuka mu ttaka mu naku nga tano era nga alina ebikoola bisatu. Okusinzira ku musana wamu ne sente zolina osobola okumansamu ensawo nya ez’ekigimusa ekigule buli hactare. Ekigimusa kigenda kuzikibwa mu ngeri yemu nga kasooli. Nolwekyo, embuyaga n’enkuba tebisobola kukikulukusa. Kiteeke 5cm okuva ku kikolo okukuuma emirandira. Bwoba oli ku luserengeto, ekigimusa kiziike nga oyambuka kisobole okukulukuta nga kikirira. Nga wayise enaku 25 nga kasooli amaze okumera, ekigimusa ekigule kirina okuzibwamu era. Kino kiyamba okuba n’emere nyingi ekula. Nga wayise enaku 40, osobola okugatamu ekigimusa kya urea, ekiyamba okukola empeke.