»Lima bingi, ofune nnyo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

http://www.accessagriculture.org/grow-more-earn-more

Ebbanga: 

00:20:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agri-insight, CIMMYT, NTV,RWRC
»Abalimi abamu mu Bangladesch bongedde ku bungi beakasooli ge‘ebalima engano ne mung bean mu budde obwekyeya yadde amazzi gaba gakendedde ag‘okufukirira nga nabakozi baba bafuuse bakawerege. Ekibasobozesa okutuuka kubuwanguzi yadde nga bayita mukusomozebwa okwo waggulu kubadde kukuumira bunnyogovu muttaka nga balima ebirime ebikula amangu nokulimisa ttulakita ezisiga ensigo amangu nga tabakabadde nnyp ttaka«

Bwokuuma ettaka nga linnyogovu osobola okusimba ekimera ekyokubiri nga kasooli ne ngano mubudde, osobola okulima n‘obukodyo ng‘okozesa enkola eyokubiri; okulima ngolekame amabanga (strip tillage) n‘ensimba y‘obilimiro (bed planting).

Bwokuumira munnimiro ebirime ngebisoolisooli. Yadde naga abalimi abamu bakabala ennimiro nga tebanasiga beerabira okulekamu ebisoolisooli. Ettaka nga toleseemu bisoolisooli likaddiwa era n‘erikala mangu.

Ekirime eky‘okubiri

Abalimi okuva e Bangladesh beeyambisa ebyuma okusiga amangu nga tebakabadde nnimiro. Mukino basobolera ddala okusimba ekirime ekituufu mubisera ebye‘ekyeya, basobola okukekereza abakozi, obudde, amazzi, n‘ensimbi.

Okulima ngolekamu amabanga

Bwoba olina ebika by‘ensigo z‘omuceere ez‘embala, osobolera ddala okusimba ekirime ekitandika n‘ekyeya nga bukyali. Osobola okutandika ne wiiki eddako ng‘osimba kasooli n‘engano nolwekyo kizibu okukabala ennimiro oluvannyuma lw‘okungula omuceere. Ekika kya tractor ekirina bbookisi ezenkizo n‘enkumbi ezisobola okusima ebinnya nga bwesuulamu ensigo ate nga bweziziika eno kwossa bwesasaanya ebigimusa.

Bwojjako enkumbi ezimu olaba nga egenda etema amavunike mu layini enfunda, ojja kulaba nti amavunike gasigala bbali. Ettaka erisigadde lisigala gumu nga sikabale olwo ekirime ekyokubiri n‘ekikula bulungi. Enkumbi ziyina okusalira omuceere sentimita 30 okuva kuttaka kisobozese ebisoolisooli okusigala nga bikuuma obunyogovu muttaka ebbanga eriwerako. Ennima y‘okulekamu amabanga ekekkereza amazzi, abakozi na mafuta olwo abakozesa enkola eno n‘ebafunamu.

Ennima y‘obulimiro

Enkola eno tulakita ekozesa enkumbi ezetoloola, oluvannyuma lw‘okulima n‘ezireka amabega ebituli ebiringa beedi. Enkola eno ekekkereza amazzi, abakozi n‘essente. Bwolimira ebirime mu beedi okekkereza amazzi ng‘ofukirira, era n‘ekitangira n‘e mmese okwonoona ebirime. Beedi zikiriza ekitangaala ky‘omusana okukka munnimiro, emesse kyezitayagala ate era okufukirira kugumya ettaka emmese n‘ezitasimasima nnimiro. Ekyuma ekisimbira mu beedi kisimba nga bwekiyiwa n‘ebigimusa nga bw‘ekiri ku ttulakitaekabala mu layini.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:48Abalimi mu Bangladesh balina ekirime ekyokubiri mu nnima yabwe.
02:4903:09Bwokungula n‘oleka ebisoolisooli munnimiro kikuuma ettaka nga gimu.
03:1005:22Abalimi abasinga bafuulafuula ennimiro zaabwe nga tebannasiga nebalekamu ensekeseke.
05:2306:11Bwosimba nga bukyali okekkereza abakozi, obudde ne sente na makungula negaba gamanyi.
06:1209:05Ttulakita ey‘enziga ebbiriezisibiddwako ebbookisi ziyina obusobozi okusimba ensigo n‘okuyiwa ebigimusa.
09:0611:38Munnima ey‘okulekamu amabanga ennimiro yonna tekabalibwa. Ogikabala ng‘omazeokungula omuceere.
11:3912:15Enkumbi ziyina okusaawaomuceere sentimita 30 waggulu we‘ttaka okusobozesa ebisoolisooli okusigala munnimiro nga bikuuma obunnyogovu.
12:1613:08Ennima endala ekekkereza amzzi, abakozi n‘essente y‘ennima eyokulimira mu beedi.
13:0914:43Bwolimira ebirime byo mu beedi kikwanguyira okufukirira ngate okekkereza amazzi.
14:4416:20Okulimira ku beedi kutangira emmese.
16:2117:44Ebbookisi ez‘ensigo ezimu zirina enkumbi ezeetoloola.
17:4520:00Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *