Okulunda ebinnyonyi kika buzinensi ekifuna ennyo ofuna amagoba mangi mu kaseera katono ate nga otekamu kitono.
Wabula nga tonatandika buzinensi eno, sooka okole okunonyereza ku nsimbi ezitandika,ebikolebwa mu kulima n‘okulunda, emitendera gy‘okulabirira osobole okwewala okufiirizibwa era kirungi okutandika nekitono oluvannyuma nozaamu okusobola okugaziya enkola y‘emirimu.
Mukwongerako, ebikka by‘ebinyonyi ebyenjawulo ebirundibwa birina ebiseera byanjawulo webidiza amagoba okugeza, ebinnyonyi ebibiika biza amagoba oluvannyuma lw‘ennaku 30 ate ezennyama ozifunamu wakati wa wiiki 6-8 .
By‘ofuna Mu Kulunda Ebinnyonyi.
okusookera ddala, obulunzi bw‘ebinnyonyi buleetera okufuna amangu ssente zobeera osizeemu era nga kyangu okutebereza amagoba gobeera onafuna.
Eky‘okubiri, obulunzi bw‘ebinnyonyi buletera okuyingiza ensimbi obutakoma okugeza osobola okuyingiza ssente ng‘oyita mu kutunda amaggi n‘ebinnyonyi.
Okwongerezaako, ebivva mu bulunzi biri ku katale kawaggulu nnyo , wanno mu ggwanga n‘emunsi z‘ewabweru ekiretera omulunzi ssente nnyingi.
Omusolo oguva mu bulunzi bwebinnyonyi gusobola okusigwa mu bizinensi endala olwo ssente zomulunzi nezeyongera.
Okwongerezaako, abalunzi b‘ebinnyonyi , bategerebwa mangu mu lujjudde kubanga ebiseera ebimu batona ebinnyonyi byabwe eri abo abatalina okugeza nga mu kiseera ky‘ebikujjuko
Era faamu z‘ebinnyonyi nnyangu okulabirira nga toli kumpi kino kiyamba okutonda wo akaseera akasobozesa abalunzi okola bizinensi endala.
N‘ekisemba, obulunzi bw‘ebinnyonyi obusasanyiza ko ssente ntonno ku bakozzi ,tekwetaaga ssente nyingi okugibezaa wo ate teyetaaga bakozzi basoma nnyo n‘olwekyo amagoba mangi gosobola okufuna.