Ekirime Macadamia kirime kya mugasonyo. Ekikalapwa kibala kya mugaso kubanga kiyina woyilo ow‘omugaso mukutumbula obulamu bwaffe.
Okulima n‘okusunsula
Tandikira mu kulizo nga olonda endokwa era oziyunge n‘ebirime ebirara okusobola okufuna ensigo ez‘omutindo. Endokwa zisimbibwa mu ttaka eririmu amazzi obulungi ku kaserengeto era ziwe amabanga.
Oluvanyuma lw‘okusimba, labirira emiti nga w‘eyambisa, bikuume nga tebiriimu muddo era fukirira nga bikyaali bito. Nga omaze okusiimba, macadamia agumira embeera y‘ekyeeya wabula osobola okufukirira okusobola okukuuma amakunku amalungi wamu n‘omutindo ogwaamanyi.
Omuti ogulabiridwa obulungi gutandika okussa ku myaka enna naye amakungula amalungi kutandikira ku myaka etaano. Goberera emitendera egiyitibwaamu okukebera obukulu bw‘ebibala nga tonaba kukungula. Mukukungula, ebikalapwa bikungulirwa mu bukutiya, nebipimwa oluvanyuma bitikibwa ku lukululana enyonjo era nebitw‘alibwa ku kkolero.
Mukutuuka ku kkolero, awo ebikalapwa bigibwaako ekikuta, nebikazibwa okutuusa kubungi bwa mazzi bwa 10% era oluvanyuma zitwaalidwa mukifo webinaayasibwa yasibwa eyo obungi bwa mazzi gyebweeyongerera ddala okukendeezebwaako okutuusa ku 1.5% nga okwaasa tekunabaawo n‘okwaasa nga kumaze okubaawo, ebivaamu bisibibwa mungeri nga omukka omulamya tegusobola kuyingira era nebitwaalibwa mu mawanga agenjawulo.
Okuva mukusunsula kwa macadamia, tufunamu ebikuta ebisobola okutekebwateekebwa oluvanyuma negidizibwaayo mu mu nimiro era ebikalapwa bisobola okukozesebwa nga enku.