Emmere erimiddwa ku mazzi ekola nga emmere eyongerezebwa ku mmere y‘ebisolo n‘ebinnyonyi ekyongera ku byojja mu nsolo.
Okwongerezaako, emmere erimibwa ku mazzi erimu ekiriisa ate ekendeza ku nsasanya edda ku mmere. Kikubirizibwa okutandiika nga okuza ensingo, kino kikolebwa okusobola okukiriza ensigo okumeruka obulungi. Okweyongerayo ebyetagisa mu kulima emmere y‘oku mazzi mulimu; olubaati, amazzi amayonjo, ensigo okugeza eggano, kasooli,omuwemba.
Emitendera
Sooka okakase nti ensigo ozisaasanyiza bulungi ku lubaati olutukula,kino kirina okugobererwa n‘okufuukirira oluvannyuma lw‘essaawa 3 oba 4 olunaku.
Okwongerezaako, teeka embaati eziriko ensigo mu butundutundu obuzimbiddwa, wano okufuukirira kukolebwa okumala ennaku 6 okutuuka ku 7.
Okwongerezaako kakasa nti embaati zirina obutuli kuba kiyamba okukamula amazzi agayitiridde agayinza okuvunza ensingo.
Mu kumaliriza emmere erimiddwa ku mazzi erina okukungulwa mu nnaku 3 oba 4 ey‘obukoko obuto, nnaku 6 ey‘enkoko enkulu n‘ennaku 7 ey‘endiga, embuzi, n‘ente.