Ente enzungu ziwa amata mangi, zisobola okuwa liita z‘amata 110 buli lunaku. Bwoba ogenda okuzaazisa ente noonya ennume n‘enkazi enaazala ennyana ewa amata amangi.
Emmere yeetaaga okubaamu ebirungo. Tabula ebisagazi, ebirungo kya bracharia, desmodium, lucern n‘emmere y‘ezaamata okufuna obulungi amata.
Endabirira y‘ente
Ente tezirina kusula mu kifo ekiregamya amazzi okuzeewaza okufuna ebiwuka n‘obulwadde. Bulijjo kuuma ebifo we zeebaka, we ziriira ne we ziwummulira nga wayonjo.
Amata gayamba okukyusa embeera y‘obulamu bw‘abantu. Ente era ziwa obusa obusobola okukozesebwa okufuna ssente.
Ente zisobola okukamibwa kumakya ne mu ttuntu buli lunaku.
Amatendekero
Gendako mu matendekero okuyiga engeri y‘okulabiriramu ensolo. Enkola z‘okulunda enkadde si nnungi.
Amatendekero gawa abalimi obubaka. Okumanyisa omulimi ku tekinologiya akyukakyuka, okusomesa abavubuka ku migaso gy‘okulima n‘okunoonya enteekateeka eziganyula abalimi.
Amatendekero gasomesa abalimi ku ngeri y‘okwongera ku bivaamu, ekiseera ekituufu eky‘okusimbiramu n‘okwongera ku mutindo. Ebidiba biyamba okukuuma amazzi era bisobola okukozesebwa okufukirira ebirime mu biseera by‘ekyeya.