Okusala emiti kuno kwe kugyamu emiti egimu okuva mu kibira.
Okuggyamu emiti kikulu nnyo naddala mu ndabiria y’emiti naye kikulu okumanya ensonga lwaki kikolebwa n’ensonga ezisinzirwako okulonda omuti ogw’okuggamu mu kibira. Singa ekibira kyo tekirina bimera n’omuddo wansi, okirizibwa okuggyamu emiti egimu kubanga kino kiraga nti amatabi wegegatira waziyivu nnyo era kiziyiza ekitangaala kuyitamu.
Ddi lwolina okuggyamu emiti
Singa wabaawo emiti mu kibira kyo nga girina enduli entono n’amatabi amatono, okubirizibwa okugiggyamu.
Osobola era okutambula mu kibira kyo nga opima okugeza enduli engazi n’ennene okulaba nti ekibira kyo si kikwafu nnyo. Obubaka buno buyinza okugerageranyizibwa n’obwo obukwatagana n’endabirira y’ekibira kyonna.
Emiti giyinza okusimbibwa wakati w’emyaka 10 ne 15 era gyonna negisalibwa lumu oba okukeberwa buli kadde okusobola okuggyamu egyonoonese oba egitali gyatunzi.
Eteeka erifuga okuggyamu emiti liri nti olina okuggyamu emiti emitono n’olekamu emiti eminene kuba kirowoozebwa nti emiti eminene giba n’obulamu okusinga emitono.
EMIGASO GY’OKUGGYAMU EMITI
Okuggyamu emiti kiyamba okufuna amabanga agamala n’ebyetaagisa emiti egisigaddemu okukula obulungi.
Ekitangaala kifunibwa bulungi n’ekisobosozesa okwongera ku bulamu n’okubaawo kw’ebitonde eby’enjawulo.
Okuggyamu emiti mu kibira kiwa obulamu emiti egisigaddemu era n’ekyongera ku bulamu bw’ensolo z’omunsiko ezibeera mu kibira.