Ekimu ku bika by‘omuti ebisinga okuba eby‘ebbeeyi ye sandalwood. Omuti gwa sandalwood gusinga kulimibwa mu mawanga nga India ne Australia.
Endokwa z‘emiti ez‘emyezi 7 ne 8 ezikuze nga zirina obuwanvu bwa fuuti 1 zisimbibwa. Ekipimo ky‘olunnyo lw‘ettaka kirina okuba wakati wa 6.5 ne 7.5. Mu kusimba endokwa, sima ebinnya ebiweza obuwanvu bwa fuuti 1.5, nga bigazi mu kukka era olekewo ebbanga lya mita 3 mu makati gabyo.Ebinnya biteekemu obusa bw‘ente n‘ettaka nga tonaasimba ndokwa. Emiti ekika kya sandalwood gyetaagisa okufukirira okw‘ekigero . Okufukirira ennyo kujja kusaanyawo
Eby‘etaagisibwa ebirala
Emirandira gy‘emiti ekika kya Sandalwood zeetaaga okubeerawo kw‘ebimera ebirala mu bbanga lya mita 1.5 ne 2 kigisobozese okufuna ebirungo okuva mu ttaka. Emirandira gy‘emiti ekika kya sandalwood gifuna ebirungo okuva mu mirandira gy‘emiti emirala.
Choose papaya, sapota, pigeon peas or quick stick as rotation crops in sandalwood plantations for nutrient absorption. Funa emiti nga; egya mapaapaali, sapota, enkoolimbo oba quick stick kuba zikyusibwakyusibwa naddala mu kulima emiti ekika kya sandalwood ekiyamba okwongera ebirungo mu ttaka. Mu mbeera ey‘obutonde, ebirime ebyonoona ebiirime nga mimosa kiyamba mu kukula kw‘emiti ekika kya sandalwood. Naye sibuli muddo ogwonoona ebitonde nti gulina okukirizibwa naddala ku mutendera ogusooka ogw‘okulima.
Ebbanga mwegikulira
Oluvanyuma lw‘emyaka 7 ne 8 nga gukuze, omuti gutandika okweyongera kilo emu buli mwaka. Ekikuta kijja kuba kitondeddwako ng‘omuti guwezeza emyaka 15.Nga gukulidde ddala, omuti gujja kubeera n‘obuwanvu bwa mita 13 ne 16 n‘obugazi bwa mita 1 ne 2. Tewali ddagala litta biwuka ebyonoona ebirime oba ebigimusa likozesebwa.
Mu kumaliriza, emiti gya sandalwood ebiseera ebisinga bagisigula mu kifo ky‘okugisawa, kubanga emirandira gireeta amagoba mangi okusinzira ku buzito bwagyo.