Okulunda embizzi mulimu ogufinira ddala bwoba nga olabiridde mu butuufu bwazo era notekawo emintedera gyokwewala,u endwadde obulungi nga gikolebwa.
Bwoba otandika faamu kakasa nti emere gyowa ensolo erimu ebiriisa byona ebyetagiisa katugambe palm kernel cake, kasooli, muwogo, ebikuta bya muwogo, muwogo omufumbe, obukutta bw‘omuceere ne mpeke enkutufukutufu wabula osobola okusiimba ebirime ebyokukolangamu emmere okukendeeza ku sente zotekamu ate era nolubirirala okugaziya ku byolunda okunyumirwa enkyukakyuaka singa ebyenfuna bikyukamu.
Emitendera gy‘okulabirira
Tekawo ekiyumba ekituufu nga kiyingiza empewo okozese nobuwuuka obutono obuyamba okugoba ekivundu n‘ensowera mu nyumba y‘embizzi. Era webuuze ku bakugu b‘embizzi ofune amagezi agasokerwako okugeza ku bika by‘embizzi, sente z‘emmere, entabula y‘emmere, enzijjanjaba wamu nebyolina okukola okufuna amagoba amangi.
Okweyongerayo, kola entekateka yo eyokutunda, pulani kubyobutale n‘emiwendo osobole okutuusa embizzi zo okuzitunda nga zizitowa nga bwekyetagisa mu katale
Okwongerako, zimba ebiyumba nga obyawula okusinzira ku mutendera embizzi mwezigwa okusobola okuzirabirila obulungi ate nokwewala obuko/okwezaalamu ate era noonya ekika ekirungi nga kirina obubonero obwagalibwa. Okwongera ku kino, embizzi zirise emmere nga erimu ebirungo byonna mu bigero ebituufu okusobola okuziwa ebiriisa ebizikuzza amangu.
Ate era kozesa ebippimo ebituufu nga oatabula emmere okwewala okusasanya enyo nga webuuza ku bakugu muby‘embizzi era ononyereze, mu ngeru yemu kuuma omutindo n‘obuyonjo nga okozesa obutonde wewale endwadde kikuyambe okukekereza ku sente z‘eddagala.
Zimba emikutu egitwaala amazzi emirungi okulaba nga obussa n‘omusulo bitambuala burungi, kozesa obukuta kubanga buyamba embizzi okusigala nga namu. Nekisembayo, kikulu nnyo okutendeka abakozi, funayo omukugu webisolo okusobola okudukanya faamu nga ogifunamu.