Obulwadde ky‘ekimu ku bisinga okusoomooza, omulunzi w‘enkoko byasanga n‘eddwadde ya coryza y‘emu ku ndwadde ezisinga obuzibu.
Obulwadde bwa coryza bwe businga okusaasana mu kulunda enkoko obuleetebwa obuwuka obutono era emisindde gye buttamu enkoko ya waggulu nnyo. Omukutu bwe guyita okusaasaana gwe gwa kabubi akabika ku liisoera gakatwala wa kati w‘ennaku bbiri n‘esatu okwalula nga kitwala ennaku kkumi ekiso kyonna okubeera nga kikwatiddwa. Ekirwadde kisaasanyizibwa mu kuyita mu gwegatta wakati w‘enkoko eddwadde n‘ezo ezitanakwatibwa era ne mukuyita mumusaasanya ng‘oli akwatta ku nkoko eddwadde ate n‘akwata ku magi agakaluwa oba obwana obwakalulwa..
Obubonero n‘okuziyiza
Obuboneroobusinga okulabika mu bulwadde buno kwe kuzimba kwa maaso g‘enkoko,okuzimba kwa mayunju, okwasimula, obutewulira bulungi, okukendeeza mu kubiika amagi, okufuna obuzibu mu kutemya n‘okuba nga teyagala kulya.
Okuziyiza obulwadde buno kuli mu kuyita mu kugema, okuteekawo amateeka g‘okwekuuma ag‘obutonde n‘okwawula enkoko ennamu n‘ezo addwadde . Era oyinza okujjanjaba enkoko nga weyambisa eddagala eriyitibwa streptomycin, sulphur, sulphonamides, tylosin ne erythromycin.
Singa obulwadde buba bwamanyi nnyo, yawula enkoko eddwadde ku zitali ndwadde.
Okulongoosa eriiso
Okulongoosa okutonotono okw‘eriiso kuyinza okukolebwa nga tujjanjaba enkoko. Kino kikolebwa nga nga tunyigiriza eriiso mu ngeri ey‘okwegendereza, ekinyini ekyeru ekyefaananyiriza amasiru kijja kuvaayo. Gatta okwatte bulungi emumwa gw‘enkoko, mu ngeri y‘okwegendereza oggyemu ekinyinyi okuva mu liiso ly‘enkoko. Wetegereze munda mu liiso y‘enkoko olabe nga tewali kisigalira kya kinnyinnyi era singa waliwo ekiriyo, kigyemu nga weyambisa bumakaasi obuzigyamu.
Weyambise sipiriti akosezebwa mu malwaliro ng‘omutadde ku kagoye akatukula era olongoose n‘obwegendereza, mpolampola okusimuula awali ekiwundu. Tteeka eddagala lya tetracycline munda mu liiso ry‘enkoko okumala ennaku ttaano era enkoko oziwe eddagala eritta obuwuka.