Obuwuka obulya obuwuka obulala obuleeta obulwadde mu bibala buyamba nyo mu kukendeeza kukufiirwa okuleetebwa ensowera z‘okubibala nga buyita mungeri nnyingi.
Olw‘okuba ensowera z‘okubibala biwuka byamutawana ebyeyambisa obutundu byabwo ebisongovu okubiika amagi munda mu ddiba ly‘ebibala ekyaluzibwamu obuwuka obuleetera okuggwa kw‘ebibala. Wabula okwegendereza kulina okukolebwa okwawula wakati wa assiddi atalina mu tawana akolebwa obuwuka buno okuva ku bipaati ebiddugavu eby‘omutawana ebireetebwa ensowera z‘okubibala awamu n‘okukakasa nti ebibala birondebwa/ biwanulwa/ bikungulibwa mu bwanguokusobola okukendeeza ku kwonooneka
Obuwuka bukuuma ebibala
nga buyita mu kubeera nga bukola n‘amaanyi mu budde obw‘emisana awo nga bugoba n‘okukwata ensowera z‘okubibala, nga biyita mu kulya envunyu ezibikiddwa ku bibala, ng‘obuwuka bwebutambula okuka wansi nga bunoonya eky‘okulya era okwongerezaako nga biyita mu mpuliziganya n‘okufulumya obukyafu obulina olusu olubi olugoba ensowera z‘okubibala.
Mu ngeri endala gatta obuwuka buno obulya ebiwuka ebirala ebireeta edwadde mu bibala n‘engeri endala zonna eziyiza ensowera zino gaba nga okukola ebitiiba ekizikwata, okukunganya n‘okusanyaawo ebibala ebigudde wansi okusobola kugobawo /okuggyawo ensowera z‘okubibala okuva mu nnimiro era n‘okwongera ku bungi bwamakungula.
Wabula abalimi balina okwemansira evu ku mibiri gyabwe okuziyiza obulumi/ obubenje olw‘okubanga kino tekikiriza buwuka buno kukwatira ku mibiri gyabwe.