Kawo akosebwa nnyo akasaanyi. Obukosefu bunno, busobola okusanyizibwa wo oba okendezebbwa ko nga okozesa ebbugumu eriva mu musana ngaa liri ku kipimo kya 50°C okusobola okutta obuwuka.
Okutta obuwuka, sasaanya ebikozesebwa ng‘ebikoola ebikalu wansi,okusobola okuziyiza ettaka okubulwa ebbugumu era olibike n‘ekiveera ekiddugavu okusobbola okufuna ebbbugumu okuva eri omusana. Sasaannya kiro 5 eza kawo (mu buli square meter) ku kiveera ekya black nga woleka wo akabanga wakati w‘ensigo era ozibike n‘ekiveera ekitangala, awo zinga ensonda bbri z‘ekiveera eraozikuumire ku ttaka ng‘otuuzeeko amayinja
Ensigo zireke mu musana okumala esaawa 2. Kinno kitta obuwuka webuba nga bwemuli oba oluvanyuma. Ensigo zitereke mu mukebe ogutayitamu mpewo. Ensigo zinno zisobolwa okozesebwa nga tezifuuyiddwa ddagala.