»Okukamisa tekinologiya«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ru2m8XNGICM

Ebbanga: 

00:08:37

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Digital Agriculture
» Akatambi kano akalambika kalaga ebirungi byokukamisa ebyuma, ebiberako, engeri ebifa ku nte gyebiwandikibwa, okumanyaobungi obuva mu buli kisolo, okumanya nga ekwatibwa ebbanyi, okwekama yoka yoka, okweyonja, okufugibwa „computer“ nokukuuma ebyafaayo bya buli nte«

Abalunzi bakozesa enkola enongoseemu okufuna amata okugeza enkola eyokukamisa ebyuma eyamba enyo abalunzi wamu n‘ebisolo.

Okwongerako abalunzi b‘ente z‘amata balina okukama emirundi esatu mu lunaku kuba kino kyongera ku bungi bw‘amata era nekikendeeza ekkabyo. Okugatako, enkola eno emanya mangu enkyukakyuka singa waberawo obulwadde oba obukosefu olwo abalunzi nebabukwasaganya nga bwekiba kyetagisiza.

Ebirungi mu nkola eno

Ekisokera ddala enkola eno eyamba okufuna amata amayonjo obulungi nga gatukira ku bwetaavu bwabo abaganywa.

Era enkola yokukamisa tekinologiya eretera abalunzi okumanya nti ente zifunye ebbanyi olwo nebalitangira okusasaana.

Okugatako, enkola eno ekakasa nti amata agakamibwa mayonjo nekitangira endwadde.

Era enkola eno ekakasa nti obungi obukamidwa buwandikibwa nga ekozesa „computer“ nekiyamba okuganya obujurizi okusinzirwa okulongoosa faamu.

Era enkola yokukamisa tekinologiya eyanguyisa okukama ente ku faamu era nekendeeza okukosebwa kwe nywanto.

Abalunzi abalina ebyuma ebikama bakekereza ku sente ezisasanyizibwa ku bakozi era nga bategera buli bungi obuva mu nte kino omu.

Nekisembayo, enkola eno etereka ebyafaayo bya buli nsolo ku mata agaze gazivaamu olwo nekiyamba omulunzi okumanya singa wabaawo enkyukakyuka mu mata nakola ekisanide okukolebwa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:12Ebirungi byo kukozesa ebyuma okukama.
01:1301:40Enkola eno eyamba okufuna amata amayonjo.
01:4102:14Eyamba abalunzi okumanya ebbanyi nga tebakebedde
02:1503:20Era mulimu okweyonja okwekola kwoka.
03:2104:31Enkola eno era akakasa nti amata agakamidwa gawandikibwa nga ekozesa „computer“.
04:3205:35Ekendeeza obudde obutwalibwa nga okama
05:3606:07Enkola eno era ekakasa nti enywanto tezikosebwa nnyo ate nokukendeeza ku sente esikozesebwa mu bakozi.
06:0806:42Eyamba okwekenenya obungi obuva mu buli nte.
06:4208:37Kamanga emirundi esatu mu lunaku. Enkola eno ekuuma ebikwata ku bungi obuva mu buli nte.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *