Kamulaali bwasigala nga mubisi, amerako empumbu era akola obutwa obuyitibwa afflatoxin obwetabu eri abantu. Ekyuma ekikozesa amanyi g’enjuba kyanguyisa okukaza nga kikuuma n’obuyonjo nga kikozesa ebbugumu eriva ku musana.
Okukazisa amanyi g’enjuba kulimu ebimgaso egyenjawulo okugamba: Kyetagisa obudde butono, kikuuma langi ya kamulaali, kyewala okumerako empumbu, kiziyiza ebisasiro okugendamu ate nga kikaza emere ey’enjawulo.
Okukola ekyuma ekikaziza amaanyi g’enjuba
Ebikozesebwa: embaawo, emisumali, obukondo, kufulu wamu n’ebaati elya pulasitika.
Tandika nga okola emyango mu mbaawo nga osinzira ku bugazi bw’olubati, ebaati lisige langi enzirugavu okusika ebbugumu okuva ku musana. Olwo okole ekikaza kya mita 3 obuwanvu, ekimeza kya 95cm era 110cm emabega.
Kum mita 3 mubuwanvu kozesa amagulu 3 ku buli luuyi okwongera okunywera era ekya waggulu okisulikemu. Kola empagi ewanirira ya 10cm okuva wansi okuyambako okusulika olusaniya. Naye kola emilyango 2 emabega egyokuyiosamu ensaniya okuyingira nokufuluma era obike emyango nga okozesa ekiveera okulaba nga empewo esobola okuyingira okuva ku njuyi zombi. Sindika olusanyiya lwa wansi 10cm okuyingira mu kyuma ekikaza empewo ekaze kamulaali omulundi gimu. Ekisembayo,bika enjuyi empanvu ez’enziji nga okozesa obutimba bw’ensiri okwewala enfuufu n’ebiwuka okuyingira era otekeko akanyolo akatono olugyi okusigala nga lwegadde.
Engeri y’okukazamu n’amanyi g’enjuba
Naaba emikono okukuuma ekintu nga kiyonjo, teeka ekyuma ekika mu musana, osasanye kamulaali ku lusananiya lwa wansi oluteeke mu kyuma. Naye kuuma enzigi z’ekyuma nga nzigale okulaba nga ensowera teziyingira. Mu biro ebinyogoga ekyuma kikumire mu nyumba okwewla okumerako empumbu.
Nga wayise enaku 2 kebera oba kamulaali akaze omupakire omutereke.