Omubisi gwe njuki mulimu ogusanyusa wakati mubw‘etaavu bw‘agwo mu bibuga n‘ebwaalo okusinziira ku kiriisa kyegulina.
Mumiziinga gy‘enjuki emikolere awaka, okukungula omubisi kifuuka kizibu kubanga enjuki z‘ezeekolera omubeera omubisi ezibeera z‘ekute ebiseera ebisiinga. Mu miziinga jenjuki egili kumulembe, omubisi gukungulwa nga okozesa akuuma akajayo omubisi mu muziinga awo negukunganyizibwa awatali kukosa combs awo nga otaasa obudde wamu n‘amanyi mukuzimba combs empya.
Ebitundutundu by‘emiti egitamala gaky‘amakyaama,okuvunda, egitawunya obutasikiriza njuki era ejiwewuka okusitula gy‘egisunsulwa okukola omuziinga gw‘enjuki.
Okukola omuziinga gw‘enjuki
Mukukola omuzinga gw‘enjuki londa ebitundu by‘emiti ebiyina obunene mukigero kya 2 cm , obuvanvu bwa 50cm, obugazi bwa 46cm wamu n‘obuwanvu bwa 26cm kubuli ludda. Munda kolayo nga waweweera bulungi okukakasa nti enjuki tezimala budde nga ziweweezaawo. Komererako buliti biri kuntobo okukola nga amagulu.
Teekako akagi kabuwanvu bwa 11 cm n‘obuwanvu obw‘oludda lw‘awansi bwa 0.8 cm ku bimera ebitonotono okusobozesa enjuki naye okutangira ennumba n‘ebiwuka ebirara ebiyinza okuzirumba. Lekawo akatundu katono akayiseemu ka 5 cm wansi w‘akagi enjuki okusobola ekuyimirirako awo nga tezinaba kuyingira muziinga.
Okukola frames ku lw‘enjuki kiziyamba okukwaatizaako ekintu omubisi mwegukolerwa, ku buli frame tema 2 bars mubipimo bya 21. 6 cm mubuwanvu, 2cm mubunenewamu ne 4 cm mubugazi era emiraba egy‘obukiika kiika ziyamba enjuki okutambula nga z‘etaaya mumassekati omubisi wegukolebwa.combs. Teekako waya ku bituliin a loop and nail it to the frame.
Okukuuma enjuki
Enjuki z‘etaaga ebbugumu naye tezisobola kukolera w‘okya nyo, okubeera n‘ekisaanikira ekivaako kiyamba okujawo ekizibu ekyo. Bikka ekisaanikira nga weyambisa amabati era ot‘ekemu obutuli kubuli ludda n‘akatimba okukuuma omuziinga nga tegulumbibwa biwuka, omusana wamu n‘enkuba.
Siiga wabw‘eru w‘omuziinga nga okozesa lanji enjeru oba oba langi etali nkwaafu nyo mu ndabika kubanga langi enkwaafu enyo zisobola okuwabya enjuki.
Jja omuziingagwo ku ttaka, mukisiikirize mukiseera ky‘ekyeeya era mumusana mukiseera ky‘obunyogovu.