Omuzigo gwa shea oguli ku mutindo gufuna kiralu. Naye bw‘okungula n‘okukwata obubi shea nuts zino kivirako okufuna ensigo embi omukolebwa omuzigo guno.
Ebibala bya shea bibikibwa okusobola okugyako ekikalappwa amangu.
Okukaza n‘okutereka.
Kunganya shea nuts ezikuze obulungi ezigudde ku ttaka mu mikebe emiyonjo okusobola okufuna ensigo ennungi omuva omuzigo. Ggako ebikalappwa okuva ku kibala kya shea amangu ddala zireme okukaatuuka. Okwongerezaako kaza shea nuts zino wakati w‘ennaku 3-5 ku mikeeka emiyonjo oba amatundubali; kebeera bulungi oba zikaze ng‘ozinyenya. Bweziba zikaze bulungi, zivaamu eddoboozi erikubagana. Ggako ebikalappwa amangu ddala nga obikuba wabula tosensebbula, wano woggyiramu ensingo okusinzira ku mitendera egy‘enjawulo. Zippakire naye nga tozimaliddeyo zonna okwewala okwokebwa ekiyinza okuleetera ensingo zino okwekwata. Ekisembayo toteereka obukutiya omuli ensingo ku ttaka zireme kwonooneka na kukwata.