»Okukuriza ennyaanya mu biyumba«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=obsLwew-NT0&t=24s

Ebbanga: 

00:15:28

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIRC National Documentaries
»Kano akatambi kakwata ku nimay‘ennyaanya mu biyumba.«

Ebika by‘ennyaanya ebyenjawulo bisobola okukuzibwa mu biyumba. Kino kikakasa nti ekirime wekiri okuyita mu mwaka ku bbeeyi esoboka.

Enkola eyokukuriza ennyaanya mu biyumba erina emigaso egyenjawulo okugeza; zikosebwa kitono embeera y‘obudde olwo nosobola okubeera nazo buli kadde mu katale, kikendeeza nekunsasaanya engeri hyekyetaaga abakozi abatono ate era nobulwadde bukendeera, obungi bwofuna ku ttaka bwobugerageranya nalimidde mu nimiro eyetadde. Okufukirira nga okozesa obupiira omuyita amazzi obutekebwa mu ttaka yenkola egambibwa kubanga okufukirira okwa bulijjo kuleeta okuvunda ebikoola n‘ebibala okweyasa.

Okweyongera kw‘amakungula

Omutendera ogusooka nga oyagala amakunguala amangi okuva mu biyumba kuba kukoola beedi nga nsitufu 1m mu nda mu kiyumba okwewala okukozimba olwo ensigo nozisimba nga 15cm wakati wa layini ne 2cm wakati webinnya, engeri endala osobola okusimba mu tule obulimu ettaka ly‘ebasigamu.

Beera nga osimba ensigo engeme nga okozesa eddagala eriragibwa okwewala okukwatibwa ebitonde ebizonoona era nokwewala okuwotoka. okwongerako, wekenyene endokwa era ofuyire ebiwuka n‘endwadde ate era okendeeze okufukirira wiiki emu nga ogenda kusimbuliza okusobola okuzimanyiiza embeera zisobole okumeruka amangu nga zimbulizibwa.

Fuyira eddagala ly‘ebiwuka bi nematodes era ofuyire ettaka nga tonasimbuliza okwewala ebiwuka era bwomala osimbulize nga wayise enaku 18021 nga okozesa amabaga ga 60cm *45cm kuba kino kyongeza ku makungula ate era nokwanguyiza okulwanyisa ebiwuka n‘endwadde. Beera nga okyusakyusa byolima osobole okukutula olujjegere lwendwadde nga bwokozesa ebigimusa nga omaze okukebera ettaka era okozese nakavundira okwongera ku birungo mu ttaka.

Simba nga otabika okukendeeza ku mugoteko okusobola okusobozesa empewo okutambula mu nda mu kiyumba. okwongerako, ebirime bifukirire naye okutobya ebikoola okukendeeza endwadde ezibikwata. Lwanyisa omuddo era oziteremu kwezilandira nga omazze okusimbuliza, ozisalire okusobola okuwanvuwa era ofuyire okuziyamba okumulisa. Okwongerako, zekebejje nga okusobola okulaba ekyetagisa nokikolako mangu.

Nekisembayo, ebikolo ebiwanvu obiwete okwanguya okubirabirira era okungule bulungi naye ogulewo awayita empewo ku naku ezokya era ozigalire ku naku ezinyogoga osobole okufulumya oluffu era kungulira mu budde obutuufu, osobola okugatta zokungudde ku bintu ebirala okukendeeza ku sente z‘entabula ate nofunamu amagoba.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:25Ebirungi byokulimira ennyaanya mu biyumba.
01:2602:16Ennyaanya zikosebwa kitono embeera y‘obudde, kikendeeza ku byotekamu, ofunamu kingi ku ttaka.
02:1702:29Emitendera gy‘okulimira ennyaanya mu biyumba.
02:3002:55Koola beedi nga ya buwanvu bwa 1m mu nda mu kiyumba, simba 15cm okuva ku layini emu era 2cm okuva ku kinnya ekimu okutuuka ku kirala.
02:5603:29Oba osobola okusimba ensigo zo mu tule omu;i ettaka era osimbe ensigo engeme.
03:3003:52Wekenenye endokwa era ofuyire ebiwuka n‘endwadde. kendeeza okufukirira nga wabula wiiki okusimbuliza.
03:5304:38Simbuliza nga wayisewo enaku 18 -21, simba amabanga ga 60cm*45cm, tekamu eddagala ly‘ebiwuka bi nematodes ne fungicide mu ttaka.
04:3905:00Beera nga okyusakyusa byolima, tekamu ebigimusa nga omaze kukebera ttaka wamu ne nakavundira
05:0106:02Simba nga otabika, fukirira nga wegendereza. Enkola eyokutabuliza ammazi mu mpiira yelagirwa okwewala okutobya ebikoola
06:0308:24Lwanyisa omuddo, ziteremu kwezirandira nga omazze okusimbuliza, zisalire era ofuyire nga zitandise okumulisa.
08:2510:18Wekenenyeebimera era ozinyenyenyenye era okutwaliza awamu ozetegereze.
10:1912:06Weta emiti emiwanvu, naaba engalo bulungi ate tozikatira.
12:0714:19Gulawo awayita empewo mu naku ez‘ebbugumu ate obikke ku bunyogovu. Kungula mu kiseera ekituufu ne ku katale.
14:2014:29Osobola okuzigatta nebirime ebirala
14:3015:28Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *