Spinach kirime ekikulira mu bbanga lya mwaka era kikula okutuuka ku buwanvu bwa centimeter asatu. Asobola okusimbibwa mu bika by‘ettaka byonna wabula ettaka eriddugavu ery‘olusenyusenyu ng‘olunnyo lutonotono likola nnyo.
Spinach asobola okulumbibwa ebitonde ebyonoona ebirime nga obusaanyi n‘obuwojjolo n‘ebirwadde diseases are downy mildew, okuwotoka, okuvunda kw‘emirandira n‘okuwumba naye okuyita mu nkola ennungi bino bisobola okutangirwa.
Spinach ameruka bulungi ku bbugumu lya 15 – 20 degrees celsius naye era agumira lwakiri 10 degrees celsius n‘obungi bwa 30 degrees celsius.
Emitendera gy‘okulima
Tandika na kukabala ttaka ligonde, gattamu ebigimusa ne kilo 25 ez‘ekirungo kya nitrogen buli yiika nnya okwongera ku bugimu bw‘ettaka.
Era siga ensigo ng‘omansa oba ng‘osiga mu nnyiriri mu myezi egigwanidde mu bifo eby‘enjawulo. Gimusanga ettaka okutuukiriza obwetaavu bw‘ebirungo by‘ekirime n‘okwongera ku makungula.
Okwongerezaako ziyiza emiddo egiteetaagisa emirundi ebiri ku esatu okukendeeza ku kuvuganya ku birungo n‘okokuleetera ettaka okuyisa empewo obulungi. Fuuyiranga eddagala eritta ebiwuka era osimbe ebika ebigumu okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde mu spinach. Ekisembayo sooka okungule oluvannyuma lw‘ennaku asatu mu ttaano ku ana ng‘osalako eikoola by‘ebweru okusobozesa ebikoola ebirala okumera.