Emyunga bibala byamugaso eri obulamu nga birimwa abalimi okulibwa wamu nokufunamu sente. Gino gisobola okulibibwa awatali busibu awaka era nga gyetaaga ettaka tonookulimirako.
Bwegiba gikula kuba obutuli mu ntobo z‘emikibe mwogenda okusiimba endokwa, kino kikolebwa okulaba nga amzzi gatambula bulungi. Okwongerako, kozesa omusenyu nga osiimba ensigo kubanga guyamba kuntambula y‘amazzi olwo ebimera nebikula bulungi nemirandira okusimba obulungi.
Okulima paka ku kukungula.
Sokka onikke ensigo mu mazzi okumala esaawa 2 okuziweweeza bwomala ozizinge mu lupapula olugonvu era ozise mu mukebe okumala esaawa 12 zisobole okutekebwatekebwa nokuleeta emirandira. Okwongerako, mansira amazzi ku lupapula plwo oziteeke mu mukebe osibibeko okusobola okukola oluzzi munda mu mukebe.
Okwongerako, zitereke okumala esaawa 12 zisobole okuleeta emirandira olwo osimbe mu bikebe nga obikubyemu ebituli mu ntobo. Okweyongerayo tabual ettaka n‘obukuta bw‘omuceere n‘obusa obukalu okwongera ku bugimu mu ttaka olwo osimbulize endokwa nga wayise enaku 7.
Era ettaka olibikke ne nylon nga omazze okusimbuliza okusobola okukuuma otuuzzi mu ttaka n‘okwewala omuddo okumera, kuno ozaako kuzimba kiyumba okulandizako emyungu. Nekisembayo ebimuli bitundule nengalo okusobola okufuukamu ebibala okwongera ku makungula.