Kamulaali ayitibwa Black pepper kirungo ekimanyiddwa nga kikabaka mu birungo. Okulima kamulaali ayitibwa black pepper kulina omugaso gwa maanyi mu by‘enfuna kubanga afuna kiralu naddala mu bya maguzi ebitundibwa waberu w‘eggwanga n‘akatale akali mu mawanga amalala.
Ebika ebirongooseddwamu ebya black pepper mu India mulimu; panniyur 1; nga avamu kilo 1240 mu yiika 14, panniyur 2 avamu kilo 2600 mu yiika 14, panniyur 3 avamu kilo 1950 mu yiika 14, panniyur 4 avamu kilo 1270 mu yiika 14, panniyur 5 avamu kilo nga 1100 mu yiika 14. Subhakara avamu kilo 2350 mu yiika 14,Sreekara avamu kilo 2680 mu yiika 14, Pancham avamu kilo 2800 mu yiika 14, Pournami avamu kilo 2300 mu yiika 14
Embeera y‘ettaka n‘obudde eyetaagisa
Kamulaali ayitibwa black pepper akulira nnyo mu bitundu ebifuna omusana , ebbugguma n‘ebiwewevu era nga bifuna enkuba mu mwaka eweza 200 cm. Ettaka erisaanidde okusimbako kamulaali aitibwa black pepper lirina okuba liddugavu ate nga limyukirivu n‘erya kibugga nkofu nga lirina ekirimu ekigimusa, nga teriregama mu mazzi ate nga lirina ekipimo ky‘olunnyo kya 5 ne 6.5.
Kamulaali ayitibwa black pepper asimbibwa nga bayita mu mutendera gw‘okusala oba okusimba ensigo. Naye ensigo zitwala obudde bungi era tezirimibwa nga zakutundibwa. Mu kusimba nga tokozesa nsigo, simba ebikolo 2 ku 3 ebya black pepper ebisaliddwa mu bibbo ebikoleddwa mu mabanda oba ebiveera ebigulumivu.
Okusimba kamulaali ayitibwa black pepper
Ekikolo ekya black Pepper ebisaliddwa biba bituuse okusimbulizibwa mu myezi 3 zokka. Naye olw‘okuba ekirime kino kiranda, kiba kyetaagisa ekintu ekikiyamba. Simba kamulaali ayitibwa black pepper mu bbanga lya mita 3 ne 4 ku kipimo kya mita 0.5 ne 0.5 ne 0.5 nemu bbanga lya cm 30 okuva ku kintu ekikiwaniridde.
Nga omuyaga tegunaba kutandika, simba ebikolo by‘emirandira ebisaliddwako 2 ne 3 mu binnya ebiri mu ttaka n‘ekigimusa ekivunze. Lwakiri ekikolo kimu ekisaliddwako kirina okuteekebwa mu ttaka wansi n‘ekirala n‘ekisigala ku nkugulu.
Okuggyamu omuddo kulina okukolebwa okusobola okwongera ku makungula, okukula , n‘okusoboozesa empewo okuyingira mu ttaka mpozzi n‘okujjako emitunsi egigudde.
Okukungula kamulaali ayitibwa black pepper
Kamulaali ayitibwa black pepper aba atuuse okukungulwa nga kamulaali atandise okuleeta langi emyufu mu myezi nga 6 ne 7 oluvanyuma lw‘okusimba era anogebwa ngalo oluvanyuma nateekebwa ku musana akale.
Ebiwuka n‘endwadde ebitera okwonoona kamulaali ono ayitibwa black pepper mulimu; ebiwuka ebiyitibwa flea beetle ne scale mpozzi n‘okuwotoka empola oba mu bwangu.