Kasooli kirime eky‘empeke ekyomugaso ennyo okwetolola ensi. Kirimu emere ewa amaanyi, emmere ezimba omubiri, vitamini n‘omunnyo era nga asobola okulibwa nga obuugi, ekipooli, emberenge oba okumukolamu omwenge nga omusiika oba okumufumba.
Era yenyini asobola okulibwa ebisolo oba okukolamu emmere y‘ebisolo. Okulima kasooli kyangumuko okusinzira nti kyetagisa sente ntono, akula mangu (myezi 2-5), mwangu okulima era nga alina akatale akobuliwo. Kaooli naye tayagala nyo bisikirize kubanga yetaaga omusana. Okuimba ensigo enongosemu okuva mu bakozi bazo abakakasibwa kireeta amakungula agawera kubanga zigumira ebiwuka n‘endwadde.
Enima y‘akasooli entuufu
Tandika nakufuna kifo nga kitambuza amazzi bulungi nga gimu nga ettaka lya lusenyusenyu nga mulimu obugimu obwobutonde okusobola okufuna amakungula amangi, bwomala osambule enimiro okugyamu omuddo n‘ebintu ebirala ebitetagibwa okolemu obutumu, ettaka elyokungulu olikuume okuobola obuba n‘ebiriisa awasimbibwa ensigo.
Ekyokubiri, simirawo okusobozesa ebirime okumera amangu okusooka omuddo wamu nokwewala ettaka okuguba naye kakasa nti otabulamu ebirime ebirala ebitavuganya kasoolo okusobola okukutala olujjegere lw‘endwadde.
Okwongerako, simba empeke 3 ku mabanaga ga 75cm wakati wa layini ate 40-50cm wakati w‘ebinnya bwoba osimba nsigo nongoseemu. Wabula bwaba amazze okumera, kumalu osigaze ebikolo 2 buli kinnya okusobola okusigaza omuwendo ogulagirwa. Okusimba kulina kukolebwa nga enkuba ettandise okusobozesa ensigo okumera obulungi nokukula obulungi.
Nekisembayo, tekamu ebigimusa mu budde obutuufu okuva ba kituunzi abesigika okusobola okunamu ennyo.