Enima ey’ekintabuli kwekusimba emiti egy’ebibira wamu n’ebirime eby’abulijjo.
Enima ey’ekintabuli erina ebirungi nga okufunamu enku, ekigimusa, ebikoola ebikalu ebikola nakavundira, omuddo gw’ebisolo, emere n’amaka g’ebinyonyi, omubisi gwe’enjuki n’ebirala. Okutema emiti egikuze nga wayise ebbanga kikuwa sente nyingi ko eri omulimi. Emiti gyosalawo okulima girina okukula amangu, nga gyegolode era nga tegisakatira nnyo, nga girina emirandira egikka wansi okwewala okulwana n’ebirime kulw’amazzi n’ebiriisa. Emiti egigata ekirungo kya Nitrogen mu ttaka, ebirime ebyongera ku bungi bwebibeera mu kifo wamu negyo egivaamu sente gyegisinga okulowozebwako mu nima ey’ekintabuli.
Emiti egitabulwa mu nimiro
Omuvule muti gumanyikidwa nnyo okusimbibwa ku mabbali ku faamu. Beeranga otematemako amatabi agebbali okugusobozesa okuwanvuwa era nga gwegolodde.Okutema omuti nga wayise emyaka 6 ku 8 kijja kuwa sente ez’egasa ate nga emiti egisigalamu jigejja. Omuvule tegubako na buzibu bwa kusakatira ate era guvamu embawo enungi mu myaka 25 ku 30.
Lusina gw’emuti omula ogw’omugaso mu nima ey’ekintabuli. Gulimu protein awomesa omuddo, era gukula negufuuka omunene ddala mu myaka 6 ku 8. Guno gusigala guremeerako nebwegutemebwako amatabi okuliisa ensolo oba okugimusa ettaka era guzaala nnyo.
Guliveriya (Silver oak) gw’emuti omulala ogw’omugaso mu nimiro nga gusimbibwa nnyo ku mabbali g’enimiro wamu ne mu mwanyi okuziwa ekisikirize. Embawo za guriveriya nazo zivamu sente kuba zikola empapula.
Omukebu gusimbibwa ku nsalosalo oba mu kabira aketongodde. Omukebu gukola empagi ezegolodde ezikola embawo n’empagi nga gukuze.
Emiti egy’okuliisa ensolo gyegimu ku gitera okubeera mu nimiro era nga gino mulimu Gliricidia, Sesbania ne Calliandra. Mu bubira obwetongodde, ebirme ebyakaseera bisobola okusimbibwa wakati mu layini paka nga emiti gisakatidde.
Emiti emirala egirimibwa mulimu niimu, akasaana ne kalitunsi.