»Okulima omuwemba n‘okugulongoosa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=2l5wjFmpdHo

Ebbanga: 

00:07:02

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Coa.Taiwan
»Mu kiseera nga ensigo zirimwa n‘okulongoosebwa, kya mugaso munene nnyo okugera ekiseera mwe gunaamulisiza, endabirira nga omuwemba gukula, okuggyamu omuddo, ensigo ezitali nnungi era n‘okutangira okukosebwa ebinyonyi wamu n‘okutangira ebitonde ebirala ebyonoona ebirime, okusobozesa ensigo eza maleeto okufuna ebisingayo mu mutindo n‘obungi nga omuwemba guguze. «

Olw‘okubeera emmere erimu ebirungo ebingi, okulima omuwemba kweyongedde mu nsi yonna. Wabula, obulimi bw‘omuwemba bukosebwa engeri ez‘enjawulo omuwemba gye gukwatibwamu nga okukungula kuwedde, ezikendeeza omutindo n‘obungi bwagwo.

Okufuna amakungula amangi ate nga ga mutindo, ensigo ez‘omutindo ze eziteekwa okufunibwa. Omuwemba gugumira nnyo ekyeya era n‘okubeera ekirime eky‘empeke ekyetaagibwa ennyo mu mmere y‘ensolo ne mu kukola omwenge, weetaaga okubaawo enkwataganya y‘okusimba wamu n‘akaseera mwe gumulisiza.

Okulima omuwemba

Endabirira mu kiseera ky‘okukula kw‘omuwemba mulimu okuggyamu omuddo, okuggyamu ensigo ezitali nnungi wamu n‘okuziyiza okukosebwa okuleetebwa ebinyonyi okusobozesa ensigo eza maleeto okufuna embeera ensukkulumu mu mutindo n‘obungi nga omuwemba gukuze. Kakasa nti tewali bika birala eby‘oluganda ku muwemba mu kifo awali ensigo z‘omuwemba wamu n‘okubeera mmita ebikumi bisatu okuva we zaawulirwa okwewala okutabula omuwemba ogukuze n‘ogutannakula ku mitendera gy‘okukula.

Mu ngeri yeemu, goberera emitendera egikakasiddwa wonna okuggyamu omuwemba ogukoseddwa wamu n‘omuddo nga omuwemba tegunnamulisa era otangire ebinyonyi mu kiseera ky‘okussaako ebibala olwo gezesa obungi bw‘oluzzizzi mu nsigo era okole n‘ebyo ebyetaaga okwetangirwa mu kutambuza omuwemba nga okugukungula/okugusala kuwedde. Omutindo gw‘amakungula gusinziira ku bukulu bw‘ensigo, embeera y‘obudde, embeera omuwemba mwe gutambuziddwa nga gukunguddwa wamu n‘obungi bw‘oluzzizzi obusangibwa mu nsigo, obukosefu obuli ku nsigo, obukalu bw‘omuwemba n‘obungi bw‘ebbugumu mu kiseera ky‘okugusunsula. Fa nnyo ku mbeera omuwemba mwe guterekebwa era owe abalimi ensigo ezimala ze banaasimba mu ssizoni eddako. Tereka ekitundu ku muwemba oguyinza okukozesebwa ku mitendera gw‘okwongera ku mutindo era nga gukyali mu tterekero, obusenge bw‘okuterekamu wamu n‘obwo obukazibwamu omuwemba buteekwa okuba nga bumanyiddwa. Teeka omuwemba mu busenge mwe gukalira nga bw‘okebera ku mbeera y‘obulimba bw‘omuwemba era londamu bulonzi gwonna gw‘olonze okugezesa omutindo.

Okwongerezaako, teeka akasenge omuwemba mwe gukalira ku by‘otaddewo okukaza omuwemba era oteekeko empiira empewo mw‘eyitira okutuusa nga empewo n‘oluzzizzi lwonna lufuumuuseemu. Era yongera ku bbugumu otandike okukaza era ogukebereko buli lunaku mu mbeera y‘okugukaza. Amangu ddala kola oba tereeza mmota singa ebizibu bigwawo okwewala okulwa mu bikolebwa. Obungi bw‘oluzzizzi buteekwa okukka ebitundu kkumi na munaana ku buli kikumi okweyongerayo ku mutendera gw‘okusunsula era oteeketeeke akasenge, ekifo etterekero mwe liri ku lw‘omuwemba ogukala era okebere oba enzigi zigguddwa bulungi era n‘ekitambuza omuwemba ogwo nakyo nga kitegekeddwa.

Si ebyo byokka ebyogeddwako waggulu, wabula omugatte gw‘obulimba bw‘omuwemba busunsulwa era ne bukungaanyizibwa mu ngeri ya kyenkanyi mu tterekero. Funamu omuwemba ogumu era okebere obungi bw‘oluzzizzi mu muwemba, gusse ku muliro era ogukaze okutuuka ku bitundu kkumi na bibiri ku buli kikumi era otandike omutendera gw‘okulondamu ensigo. Teeka ensigo z‘omuwemba ezisunsuddwa ku bbugumu lya ddiguli amakumi ana era we zikalira walina okubeera n‘obugulumivu obukka wansi wa ssentimmita amakumi ana. Kebera obungi bw‘oluzzizzi ku makya ne mu ttuntu.

Tandika omutendera gw‘okulondamu oba okweroboza nga osookera ku kyusakyusa ekyuma ekirondamu era okakase ekyo ekikozesebwa mu kukungaanya enfuufu kiteekeddwawo osembyeyo okulamba oba okuteeka ebipimo ku kyuma ekipakira oba ekisiba ensigo ennene, tegeka ebipakirwamu nga tonnaba kulondamu oba kwawulamu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:40Ku lw‘amakungula amalungi agali ku mutindo, ensigo ennungi kikulu nnyo.
00:4100:50omuwemba gulina amaanyi mangi ag‘okugumira ekyeya.
00:5100:57Kimera kya mpeke ekyetaagibwa ennyo mu kukola emmere y‘ensolo n‘omwenge.
00:5801:06Kwanaganya okusimba omuwemba n‘ekiseera mwe gunaamulisiza.
01:0701:24Okugulabirira kulimu okuggyamu omuddo, ensigo ezitali nnungi n‘okutangira okwonoonebwa ebinyonyi.
01:2501:42Kakasa nti tewali bika birala bya luganda n‘ouwemba mu kifo kyekimu ensigo we zimerezebwa.
01:4301:49Goberera emitendera egikakasiddwa wonna okuggyamu ebitatuukiridde n‘omuddo nga okumulisa tekunnatuuka.
01:5001:52Kola ebyo ebitangira ebinyonyi mu kiseera omuwemba mwe gussiza.
01:5302:01Gezesa obungi bw‘oluzzizzi era n‘ebyo ebitangirwa mu kutambuza omuwemba nga gukunguddwa/gusaliddwa.
02:0202:14Amakungula ag‘omutindo gava ku bukulu bw‘ensigo, embeera y‘obudde, embeera omuwemba mwe gutambuliziddwa n‘obungi bw‘oluzzizzi mu muwemba.
02:1502:25Obukosefu ku nsigo, obukalu, obungi bw‘ebbugumu n‘obudde nabyo bikosa omutindo gw‘ensigo.
02:2602:41Fa ku bikozesebwa mu kutereka omuwemba era oteekewo ensigo ezimala eri abalimi nga za kusimba mu ssizoni eddako.
02:4202:54Tereka ekitundu ku muwemba nga gwa kusimbibwa abalimi mu ssizoni eddako.
02:5503:11Nga guli mu tterekero, obusenge mwe guterekebwa n‘obusenge mwe gukalira bulina okumanyibwa.
03:1203:31Teeka omuwemba mu busenge mwe gukalira nga bw‘okebera ku mbeera y‘obulimba era olodemu gw‘olonze okugezesa omutindo.
03:3203:44Teeka akasenge mwe gukalira ku biteekeddwawo okukaza, teekako empiira ez‘empewo empewo eyitemu.
03:4504:00Yongera ku bbugumu, tandika okukaza era ogukebereko buli lunaku.
04:0104:06Amangu ddala kola oba tereeza obuzibu mmota bw‘efunye.
04:0704:13Obungi bw‘oluzzizzi bulina okukka okweyongerayo ku mutendera gw‘okusunsula.
04:1404:19Tegeka akasenge, ekifo etterekero mwe liri okukaza omuwemba.
04:2004:27Kebera oba enzigi z‘etterekero zigguddwa bulungi era n‘ekitambuza omuwemba nga kitegekeddwa.
04:2804:32Nga omugatte gw‘obulimba guli mu kusunsulwa, kungaanya ensigo mu ngeri y‘okuzenkanyankanya mu tterekero.
04:3304:43Ggyamu ogumu okebere ku bungi bw‘oluzzizzi, ssa ku muliro era ogukaze.
04:4404:52Tandika omutendera gw‘okulondamu era oteeke ensigo ezisunsuddwa ku bbugumu lya ddiguli amakumi ana.
04:5304:57We gukalira walina okuba ku bugumu obuli wansi wa ssentimmita amakumi ana.
04:5805:07Kebera obungi bw‘oluzzizzi ku makya ne mu ttuntu.
05:0805:23Tandika omutendera gw‘okulondamu nga otereeza ekyuma ekirondamu era oteekewo ekyo ekikozesebwa mu kukungaanya enfuufu.
05:2405:30Teeka ebipimo oba lamba ekyuma ekipakira oba okusabika ensigo ennene era oteeketeeke omupakirwa nga tonnalondamu.
05:3107:02Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *