Okusobola okufuna amakungula amangi ng‘olima soya,enkola ennungi ez‘okumulima mu zirina okugobererwa
Wewaba tewetaagisa kuyiikula ttakaa, longosa ekiffo wogenda okulimira,yokya kasasiro buli wekyetagisa era ofuuyire ennimiro yo ng‘okozesa eddagala eritta omuddo oguyinza okummera.Woba oyagala okozesa enkola y‘okusimba nga oyikuudde ettakaa, ,sooka okabale osobole okufuna ettaka eggonvu nga teririimu mafunfungu.Ggula ensigo za soya ezirongoseddwa ez‘enjjawulo okuva mu kolero ly‘ensigo.
Okusimba n‘endabirira
Soya musige mu bbanga erikuragibwa lya sentimita 5 ku 10 mu nnyiriri zennyini ne sentimita 60 mu makati g‘ennnyiriri.Soya alina okusimbibwa mu biseera ngaa enkuba ewerako yakattonnya era ensigo ziteeke mu binnya ebirina ekipimo ky‘obuwanvu bwa sentimita 2 era ozibikeko ettaka ettonotono.
Okwewala omuddo ogwo‘onoonaa ebimmera kikkulu nnyo mmu kulima soya.Akaseera akasinga obbuzibu kaliwakati w‘olunnaku olw‘ekumi nattaano n‘lwabiri mw‘ettano nga wakamala okusimba naye kyamugaso nnyo okukuuma enimiro yo nga temuli muddo okuva mu kisimba okutuusa lw‘okungula.
Soya mukungule nga aleesa ebikoola ebya kyenvu era omusasaannye asobole okukala.Wommaliriza okumukaza,mususe osobole okufuna empeke za soya.