Bwoba omanyi bwekafanana era nogyangamu akasnyi kano kyangu okukalwanyisa.
Akasanyi katera kwekweka mwansi mu mutunsi gwa kasooli eddagala gyeritatuka. N’olwkyo abalimi balina okukanoonya okusobola okukuuma amakungula gabwe. Akasanyi kagala nyo okulya ebikoola bya kasooli, naye nga kasobola nokubeera ku bimera ebirala. Butandika nakukuba butuli butonotono mu bikoola nebumaliriza nagatuli aganene.
Olujjegere lw’obulamu bw’akasanyi
Ekivu kisobola okubuuka engendo empanvu era n’ekireka maggi 200 ku kikoola. Ekivu bwekimala okuleka amaggi emabega, osobola okugategera kubanga genkana ekigalo ekisajja obunene era nga gali mu bintu ebyeru, oluviri olugonda.
Nga wayise enaku satu obusanyi bwalulwa. Wdde nga busooka kwewalulira ku bikoola, ebiwuka bino birekawo obutuli obutono.
Mu naku satu ezidako obusanyi buba bunoonya mutunsi kwekweka, Mu kiseera kino ebituli ku bikoola byongera okugejja, kubanga akasanyi kakula. Bwobikula omutunsi ojja kusangayo akasanyi kamu kubanga bwelya okwewala okulwanira emere.
Nga wayise wiiki bbiri ku satu akasanyi kava mu kasooli nekaggwa ku ttaka. Wano kasima obutenkana lugalo nekazimbayo ekiyumba ekya kitaka omukwafu.
Mu wiiki bbiri nga ziyisewo, ekivu kivaayo, nekibuuka era mangu ddala nekibiika amaggi amabya.
Okutisa engalo
Mu wiiki mukaaga ezisooka genda mu musiri enaku satu ku makya. Olwo ononnye awakosebwa n’obubonero. Bwosanga entumu y’amaggi nga gazingire mu kikoola era oganyigiremu n’engalo waggulu n’ewansi.
Osobola nokugatamu ekigiko ky’ettaka, evvu oba omusenyumu mutunsi, okutta akasanyi.