Okusalira kw‘ekujamu ebitundu n‘amatabi agamu ag‘emiti. Ky‘amugaso kubanga kiyamba okutangira okugeja kw‘omuti. era n‘okukuuma omuti nga teguyuuzibwa yuuzibwa.
Okusasalira kuteekedwa okukolebwa mangu nga amakungula gawedde, Mukukungula, noga ebibala n‘obukonda bwaabyo okutangira okutonya kw‘amasanda ekiyinza okuleetawo obukosefu.
Okusalira
Mukusalira, sooka otemeko amatabi amakadde kubanga gano gabeera n‘obuwuka obuyinza okuleeta okusaasana kw‘obulwadde, obun‘azibwa n‘enkuba ekireetera omuti gwonna okulwaala.
Kuuma obunene bw‘omuti nga oyita mukutema amatabi amanene agatabala era oteme enimi z‘amatabi okusobola okugakuuma nga mampi.
Oluvanyuma lw‘okusalira, omuti guleeta amakoola amapya omulundi gumu oba ebiri oluvanyuma guddamu negusa ebibala nate. Oluvanyuma lw‘okukungula ebibala, ddamu okusalira nate.