Okuleka ebbanga eddene wakati w‘ebirime bya soya kireeta amakungula amatono ne bwe bifiibwako ennyo. Amakungula gasobola okwongezebwa singa ebimera by‘ongezebwa obungi.
Soya alimu ekiriisa kya butto, ekiriisa ekizimba omubiri n‘ebirungo ebirina omugaso ku bulamu bwaffe era asobola okukolebwamu ebintu ebirala nga, amata, obuwunga obulimu ekiriisa, butto afumba n‘omuzigo. Okwongerako, ebimera bya soya byongera ku bugimu bw‘ettaka era cacu waabyo mmere nnungi eri ebisolo.
Okwongera ku bungi
Kozesa ensigo ezimeruka obulungi era kino kirina okuba nga tekyakolebwa ku ttaka kwennyini era mu bukutiya obikkule kuba ensigo ya soya erimu butto era efiirwa mangu omutindo gwayo singa tekuumibwa bulungi.
Okumanya oba ensigo emeruka bulungi oba bubi, Kebera obusobozi obw‘okumera obw‘ensigo ng‘osimba ensigo 100 mu mukebe oba emmerezo entono n‘amazzi. Singa ensigo 80 zimeruka mu wiiki emu, olwo ensigo eba emeruka bulungi.
Nga tonnasimba nsigo efuniddwa, sooka olaawe ennimiro yo ku museetwe oba ku busozisozi naye weewale okukabala ennimiro erimu omuddo kuba ebbugumu erifulumizibwa ng‘omuddo guvunze litta ensigo. Oluvannyuma lw‘okukabala , gonza ettaka ng‘okubaakuba amafunfugu.
Ekisingako simba mu binnya ebimpi oluvannyuma lw‘enkuba ennyingi ng‘owa amabanga ga sentimita 20 wakati w‘ebimera ebito ne sentimita 40 wakati w‘ennyiriri kuba soya anywa ekirungo kya nitrogen okuva mu mpewo era amukozesa okukula kubanga yeetaaga ebiriisa bitono okuva mu ttaka.
Amangu ddala nga waakamala okusimba, ziyiza ebitonde ebyonoona by‘ebirime naddala ebinyonyi naye simba ensigo nga nnya mu buli kinnya kubanga ezimu zijja kuliibwa ebitonde ebyonoona ebirime ate ntono okubeera n‘ensigo bbiri mu buli kinnya mu kukuula omuddo.
Oluvannyuma lwa wiiki ntono, obumyu bw‘omu nsiko bwokka bwe bujja okwonoona ebirime naye buziyize ng‘obuyigga ekiro n‘okubutega.