Awatali ndabirila nnungi, amakungula g‘ennanansi gagenda gakendeera buli kadde. Mukatambi kano, Tulaba engeri gyetusobola okukungula ekinene munnimiro zaffe mu bbanga lya myaka 6.
Ennanansi zikula bulungi ku ttaka eririna ebigimusa eby‘obutonde. Ebigimusa eby‘obutonde biyinza okuba bivudde mu bukuta bw‘emmwani oba kalimbwe w‘enkoko. Obukuta bw‘emmwani bufulumya ekiriisa mpola naye nga kirwawo bw‘ogerageranya ne kalimbwe wenkoko. Bwomala okussaamu ebigimusa bino, ssaako ettaka naye teweyambisa kalimbwe wenkoko bwegaba nga amakungula gatundibwa mu katale akaagala ebikunguddwa ebikulidde ku butonde. Osobola okutabika munnanansi ebirime ebigata nitrogen muttaka kubanga byongera obugimu muttaka, biwa omulimi emmere, bikendeeza kummera y‘omuddo ate nga bireeta enssimbi ng‘omulimi tannakungula nnanansi. Bwomala okukungula weyambise ebisunku byebijanjaalo okubikka ennimiro.
Engeri entuufu ey‘okutabika
Ssimba ennanansi nga wetooloza akaserengeo mu nnyiriri bbiri bbiri mu mabanga ga sentimita 30-50 wakati. Lekawo mita 1 – 1.5 okuva ku nnyiriri ebbili ezimu okudda kundala osimbemu ebirime ebigatta nitrogen muttaka. Oluvanyuma lw‘emyezi esatu, ssaako obusa, nakavundira oba ebikuta by‘emwanyi wakati mu layini zennanansi, obikkeko era osimbemu ebitooke oba emiti egigatta nitrogen muttaka gisobole okuwa ekisiikirize.
Ssalira ebirime ebiwa ennanansi ebisiikirize okwewala ebisiikirize ebiyitiridde.