Woba obeera mu kitundu ekitaliimu nkuba, osobola okwongera ku makungula g‘okakasa nti weyambisa enkuba yonna era nga n‘ekirime okirisiza bulungi.
Kabala ng‘enkuba tenatandika kutonnya era otuukire ddala munda mu nnyiriri zogenda osimba mu kuba kinno kiyamba okumennyamenya ettaka erikutte wansi ekiyamba amazzi okunyikira obulungi mu ttaka. Okusobola okutema obulungi amavuunike, nga okyusiza omutindo gw‘enkumbi ekirima ng‘ojeeko ekitundu ku nkumbi ekiyitibwa ,“mould board“ n‘okisikisa ekiyitibwa“ spike“ kinno nga kigumu ate nga kizitto oba okozese enkumbi eyitibwa“ chizzel“plough woba okozesaza tulakita .
Enkozesa y‘ebigimusa
Teeka ebipimo by‘ebigimusa bya lubattu lw‘engalo kimu ku buli wolinnya ekigere ku mabbali g‘olunyiriri wogenda okusiga era osige ensigo sentimita 5 okuva ewali ebigimusa. Tomansa bigimusa kubanga obeera oyonona.
Mubiseera by‘enkuba nga ntono, Kozesa enkola y‘okuteeka ebigimusa ku kirime nga kimaze okumera. Linda endokwa zifune obukola bubiri olwo olyoke oteekekoo ebigimusa okusobola okwewala okwonoona sente ku bigimusa .Era enkuba w‘ettonya, osobola okusala wo obutagula bigimusa wadde.Enkola eno esobola okola ku kasooli,ku birime ebbireeta ekiriisa kya nitrogen mu ttaka n‘ebbirime ebirala.
Okusobola okufunamu wetaaga , okozesa embala z‘ensigo ennungi ezenjawulo, endabirira ennungi, n‘okutabinkiriza ebirime obulungi.