»Okutta ensowera z‘okubibala n‘obutundutund bw‘emmere«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/killing-fruit-flies-food-baits

Ebbanga: 

00:12:20

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-Insight
»Ebitundutundu by‘emmere bisoboka okweyambisibwa ng‘ebifuuyira ebibangirizi oba ebituuti by‘ebitundutundu . Ensowera z‘okubibala zisobola okuwunyiriza ebitundutundu by‘emmere okuva mu bitundu ebimpi n‘okutuuka mu mita kkummi. Ebitundutundu by‘emmere ebimu birina eddagala ery‘obutonde eritta ebiwuka ebikirizibwa mu mu nnima ey‘ebibala eyannakavundira. Wegendeereze kino: Viddiyo eno erina ebintu ebimu ebikwata ku ddagala eritta ebiwuka ebyonoona ebirime.«

Ensowera z‘okubibala yemu kunsonga enkulu ezeralikiriza okulima kwe bibala mu nsi yonna, wabula tekinologiya aleese okukakanya kw‘ekizibu kino.

Ensowera z‘okubibala zireeta okufiirizibwa/okwonooneka mu bibala anti zifumita/ziyingiza amggi gaazo mu ddiba ly‘ekibala, ne zaaluliramu obuwuka obweru obureeta okuvunda. Obutundutundu bw‘emmere bweyambisibwa mu tangira ensowera z‘okubibala: Ensowera z‘okubibala zonna sisikirizibwa obutundutundu bw‘emmere obujjudde ebiriisa bya puloteyini ne ssukaali ensowera byezeetaaga mu kukula n‘okukuza amaggigaazo. Nga ensowera z‘okubibala bwezikoonga emmere eri mukutuuka mu mita kkumi, ebitundutundu by‘emmere ebimu bigattiddwa akawoowoo akasobola okusikiriza ensowera eddla okuva ewalako. Weyambise ebitundundu by‘emmere ebyetunzi ebigattiddwamu ekirungo ky‘eddagala eritta ebiwuka .

Ebitimba ebikoleddwa Pheromene

Obutundutundu bw‘emmere bweyambisibwa nga buyiiridwa mu bibangirizi. Wabula weyambise ebitimba ebikoleddwa mu pheromone okusobola okakaksa oba ensowera z‘okubibla weziri. Ensowera zirabika singa emiyembe giweza mitta saut obugazi. Bwesikakasibwa nti weeziri , tabula amazzi n‘ebitundutundu by‘emmere mu bipimo bisatu ku kimuebya liita (3:1 litres). tekamu ppomba efuuyira ofuyiire ogubangirizi oguweza mita emu buwuavu ne mita emu mu bugazi ku buli muti ku buli ludda lwa bikoola. Ebtundutundu by‘emmere bibeera bikola bulungi oluvanyuma lw‘ennaku kkumi g‘omaze okufuuyira. Mu kufuuyira, tofuyiira kunaku ez‘empewo nnyigi, ddamu ofuyiire nga enkuba emaze okutonnya

Okukuuma ebitundutundu by‘emmere

Sala ekiddomola mu makati era oteekemu ebitundutundu by‘emmere ebikwatiramu mu kitundu ky‘ekiddomola. Kiwanike waggulu ng‘okitunuza wansi okwewala ebitundutundu by‘emmere okugattimwa enkuba. Nnyika ekintu ekirina ekyovu mu bitundutundu by‘emmere, kiteeke mu makati /kumutima gw‘ekiddomola okiwanike ku muti nga kitunnudde wansi okusobola okwongera amazzi okuyiika. Gatta enkola endala ku nkola y‘ebitundutundu by‘emmere gaba n‘okusanyaawo ebibala ebigudde nga byonoonese era n‘okwongera mu nkola ey‘obutonde ey‘obulabe nga okulabirira obuwuka obulya ebiwuka ebirala ebireeta endwadde okwetangira ensowera z‘okubibala. Ebitundutundu by‘emmere tebitta bizaalisa bya bimera.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:55Ensowera z‘okubibala ziyingiza amaggi gaazo mu ddiba ly‘ekibala agalulibwa ne galeeta obulabe.
00:5602:39Abalimi beetaaaga emmere egagga mu kiriisa kya ppulootiyini ne ssukaali .
02:4003:09Gatta ebitundutundu by‘emmere n‘akawoowo okusobola okusikiriza ensower okuva ewal. Weyambisi ebitundutundu eby‘etunzi ebirina ekirungo ky‘eddagala eriata ebiwuka.
03:1003:45Weyambise ebtimba ebikoleddwa mu pheromone okukakasa oba ensowera weeziri.
03:4604:02Weekeneenye ebitimba okukakasa oba ensowera weeziri nga tonaba kufuuyira.
04:0304:59Kola enongosereza mu mpiso y‘eppomba nga weyambisa amazzi.
05:0005:24Tabula amazzi n‘ebitundutundu by‘emmere mu bibimo bisatu ku kimu ekya liita.
05:2506:23Fuuyira okugangirizi gwa mita emu mu bugazi ne mita emu mu buwanvu m ku buli muti ku njuyi zombi ez‘ebikoola.
06:2407:39Ebitundutundu by‘emmere bikola nnyo mu nnaku kkumi oluvannyuma lw‘okufuuyira. Tofuuyira kunnaku zirina mpewo nnyingi nnyo, ddamu okufuuyira oluvanyuma lw‘enkuba era ku makya kwokka.
07:4009:03Taasa/Kuuma ebitundutundu by‘emmere ku nkuba.
09:0409:41Gatta enkola endala zoona ku nkola y‘ebitundutundu by‘emmere okutta ensowera.
09:4210:10Ensonga y‘okweyambisa ebitundutundu by‘emmere ku nkola endala. Ebitundundu by‘emmere tebitta biwuka bizalisa bya bibala.
10:1112:20Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *