Osobola okutta obuwuka obwonoona ebirime nga okozesa ebintu by’obutonde okusobola okukuuma kasooli wo.
Obuwuka obwonoona ebirime bulya ebikoola bya kasooli. Ebiseera ebisinga bireka ebituli ebinene mu bikoola, era birya okutuuka ku kasooli y’ennyini. Kino kirina okutwalibwa nga ekikulu. Obuwuka buyinza okuba obusanyi, obwekweka mu kasooli, amagi oba ebikuze nga biringa binamatimbo.
Eby’obutonde ebikozesebwa
Obutonde buwa abalimi ebikozesebwa, ebiziyiza obuwuka obwonoona ekirime kya kasooli. Ebikozesebwa bino era biyitibwa ‘mikwano gya balimi’ era bisobola okutta kyenkana ebiwuka byonna. Enkuyege, laybird bettles, earwigs birya ebiwuka ebyonoona ebirime n’amagi gabyo. Binamatimbo biribwa ebinnyonyi, obuwundo n’enabbubi.
Eddagala litta ebiwuka ebyonoona ebirime , mu kiseera kye kimu mikwano gwa balimi. Okwongerezaako, terituuka mu nsonda. Nolwekyo, okukozesa ebintu by’obutonde kye kisinga.
Okukendeeza ku buwuka obwonoona ebyonoona ebirime
Mu wiiki mukaaga ezisooka olina okusanyawo buli kiwuka ekyonoona ebitonde n’amagi ng’okozesa engalo , kubanga ekimera kiba kikyakula.
Okusikiriza enkuyenge, osobola okuteeka buto afumba ku nduli ya kasooli, nga awanvuyemu okutuuka ku maviivi. Nga amaze okuteekako, teeka buto wansi ku ttaka ne ku mita emu okuva ku ttaka. Simba emiti , ebimuli by’omunsiko n’omuddo okulinaana ennimiro, okusobola okuwa ebikuyambako okutta ebiwuka eby’obutonde ekifo webibeera.
Engeri endala ey’okukendeeza ku buwuka obwonoona ebirime ye y’okweyambisa ekintabuli ekikoleddwa okuva mu obutonde nolwekyo wetaaga; ekibatu kijjudde ekya marigold, ekibatu ekijjudde eky’emitunsi gya tephrosia, ekibatu ekijjuddekya kamulaali ayengedde n’ebikoola by’ekigajji.
Tandiika ng’osala ebirungo ebyetaagisa byonna. Awo ogattemu lita za mazzi 6 n’ebirungo ebisalesale mu kintu era obireke byetokote okumala essaawa emu. Oluvanyuma bireke biwole era obisengejje. Awo gattamu taaba gwebanuusa otabula okumala eddakiika ttaano. Wano era ddamu osengejje emirundi mingi ko. Oluvanyuma lw’okusengejja biyiwe mu jaaga eweza liita 5 era obitereke mu kisikirize. Ku lunaku oluddako teek`a akatuli akatono ku kasanikira, kisobozese omukka gwonna okufuluma. Bireke okumala wiiki. Wano osobola okugattamu ekintabuli ekikoleddwa okuva mu butonde. Liita emu ey’ekintabuli esobola okutabula liita za mazzi 20, zosobola okufuuyira ku waafu ya hectare ya kasooli.