Obulwade bwokuvunda kwemirandira nebikolo bikosa kyamaanyi ebinyeebwa nekikendeeza amakungula. Obulwadde bw‘okuvunda kwekyikolo busasaanyizibwa mpewo, amazzi agafukirirwa ssonga amazzi agatatambula gasasaanya byombi. Okuzuula nga bukyaali, okwekakasa enziyiza entuufu n‘engema kiretera amakungula okweyongera. Ebinyeebwa birimibwa wonna okufunamu butto, emmere y‘ente n‘ebinyonyi, ebigimusa ebyobutonde bisobola okwongera kubugimu bwettaka nebigattamu nitrogen mu‘ttaka.
Obubonero bwendwadde z‘emirandira n‘ebikolo
Ebimera bikala oba biwotoka nga birina emirandira egivunze egiwunya. Kibaawo mu‘nnaku 30 oluvanyuma lw‘okusiga. Obulwadde buletebwa empumbu (fungus) ebeera m‘uttaka.
Okuziyiza n‘okugema
Sooka ofuule fuule ettaka ng‘okka wansi muttaka oyelule empumbu eri omusana era simba bbeedi engulumivu (15cm obuwanvu) ku‘lwokufukirira obulungi.
Ekyokubiri, weeyambise empumbu ey‘omugaso kulw‘okusika ebirungo era okoole ebimera okusobozesa omusana okubyakamu.
Kwebyo gattako okukuula n‘okwokya ebirime ebikoseddwa obulwadde okugema okusasaanya kw‘obulwadde era ffuyiira kawunyira okukuuma ebirime okuva eri endwadde.
Mukufundikira, weyambise kisula okulwanyisa okuvunda kwekikolo era wekakase ennima yokukyusakyusa ebirime buli sizoni okukutulamu obulamu n‘obuwangaazi bw‘endwadde.