Okuziyiza obutwa
Ekisooka, lya emere erimu ebiriisa byonna okuziyiza obutwa era oliiremu enva endiirwa, ebibala era nemere endala etayina nnyo bulabe. mungeri yeemu, abalimi balina okukozesa enkola z’obulimi ennungi okukendeeza okw’ononeka era n’okukuuma ebirime nga tebiyina bulabe era yawula ebirime okugyamu ebitakuze era n’eminyololo egikosedwa era otangire ensigo okugwa ku ttaka. Tereka ebimera byona mukifo ekiweweevu era nga kikalu, awatatuuka nkuba era awatali bitonde biby’onoona era gattamu kilo 10 ez’ekirungo kya afasafe mu yiika kkumi na nnya wiiki 2-3 nga oluyange terunaja eri kasooli era n’oluvanyuma lwennaku 30-45 nga omaze okusimba ebinyeebwa.