Abantu banji munsi balunda endiga ez‘enyama, eby‘oya wamu n‘amata. Mubisiikirize byabwe awaka, endiga n‘embuzzi ebiseera eboisinga zikuumirwa wansi okuteeka ensolo butereevu n‘omusulo gw‘azo wamu n‘obusa. Kino kireetera obukyafu ekiviirako ensolo nyingi okulwaala.
Okujjawo ekizibu kino omuntu ayina okuzimba ekiyumba nga kiwanikidwa awali ekisiikirize ekyangu ky‘okulongoosa wansi w‘akyo. Tewali nddwade nga ekiyumba kiwanikidwa, kyangu omuntu okulongoosa ekisiikirize era osobola n‘okukola ebigimusa okuva mu busa.
Zimba ekiyumba
Ekiyumba kipimwa, empaji z‘ekiyumba zizimbibwa, Okwesigama ku buwanvu bw‘ekisiikirize amabanda gatemwa ku buwanvu obw‘etagisa okukola empagi ez‘okuwanirira ekiyumba olw‘okulongoosa okw‘angu okw‘ebigimusa. Bwekiba kisoboka ekiyumba kyandibadde 1m mubuwanvu okuva ku ttaka.
Awan‘asibirwa wateekebwaawo kunkomerero y‘empagi eteekebwaako,ekinya ekiweza obuwanvu bwa kitundu kya mita kisimwa okuliraana ensoda w‘oyagala okuteeka empagi. Okusinziira ku bunene bw‘ekiyumba, empagi ezimu zijja kw‘etaagisa mumakati, buli mpagi eyina okubeera nga yeyawudde mita emu okuva kundala era empagi zonna ziyina okubeera nga nwyevu era nga tezinyeenya.
Amabanda agagenda obukiika gatekebwaako kungulu we mpagi era negasibibwaako. Amabanda amatereevu galondebwaamu okukola slats ez‘awansi. Amabanda gatemwa okusinziira kubugazi bw‘ekisiikirize.
Okukendeeza ku bubenje
Notches ensongovu zikulukunyizibwa era nezifuulibwa ntereevu okubeeranga ebisolo tebirumizibwa. Buli kitundu kya banda ky‘abuluzibwaamu emirundi enna ejenkana, ensonda ensongovu zi ziseteze, obubaawo bw‘amabanda bugalamizibwa wangulu miraba gy‘egiyumba, obubaawo bubiri bubiri bukomererwa ku buli ludda.
Okuva ku fixed slats, slats endala zisibibwa kubuli luda okuva wagulu okuliraana amakati mukw‘eyambisa omuguwa mungeri nti gasobola okufunyizibwaakomukulongoosa. Emiwaatwa tegiyina kulekebwaamu n‘amabanda agakiragala. Amaddaala ag‘obukutiya bw‘omusenyu gasobola okukozesebwa okuyamba endiga n‘embuzzi okuyingira wamu n‘okufuluma.
Ekiyumba kiyina okulongoosebwa buli lunaku ensolo okubeera ennamu .