»Okuziyiza ekiwuka ekyonoona ensigo z‘emiyembe.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/managing-mango-seed-weevil

Ebbanga: 

00:12:08

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Biovision Africa Trust
» Engeri ey‘omulembe ey‘okukebeera oba nga ddala olina ebiwuka ebyonoona emiyembe erimu ey‘okukozesa omutego ogukwatira ku buli nduli waggulu ewasemba nga tegunamera matabi. Engeri ennungi ey‘okuziyiza ebiwuka ebyonoona emiyembe ye y‘okwokya kawunyira omukka oguvaamu n‘egweyambisibwa okugoba ebitonde ebyonoona ebirime. Bulijjo gyamu era osaanyewo ebibala ebigudde mu nnimiro y‘emiyembe..«

Emiyembe girimu ekiriisa ate nga miwoomu naye gikwatibwa mangu ebitonde ebyonoona ebirime nga ebiwuka ebyonoona ensigo.Okwetangira mu budde kyongera ku mutindo.

Ekiwuka ekyonoona ensigo z‘emiyembe kivaako okwonoona ekitundu ekiriibwa ku muyembe n‘ensigo ekivirako ekibala okunogoka nga tekinakula bulungi.Obulamu bw‘ekiwuka ekyonoona ensigo z‘omuyembe bwe buno; ebiwuka ebikulu bibeera bya kitaka omukwafu n‘ebifuna langi eyakilagala omusiwuufu ekibisobozesa okusigala ku kikakkampa mu biseera eby‘okussa. Birya miyembe gyokka era bisobola okuwangaala okumala ebbanga eddene nga tebirya. Ebiwuka ebikuze bigenda mu matabi okuwaka n‘okubiika amagi agalulwa negafuuka ekisanyi wakati w‘ennaku 3 ne 4 oluvanyuma n‘ebiyingira mu nsigo mwebikulira ate oluvanyuma bivamu n‘ebyekweka mu bikakkampa ebitakute bulungi, ebikoola ebigudde n‘emiti emikalu.

Omutego gw‘ebiwuka ebyonoona emiyembe.

Faayo nnyo okuzuula ebitonde ebyonoona ebirime mu nnimiro y‘emiyembe era okozese omutego ogukwatira ogusikiriza ebiwuka ebyonoona emiyembe. Ekirala kozesa eddagala erifuyira ebiwuka naye lino likosa omulimi n‘ebiwuka ebirungi mu nnimiro y‘emiyembe. Fuba okwaza ebiwuka bi weaver ants mu nnimiro y‘emiyembe era oyokye kawunyira,okusoboozesa ebiwuka okubirya n‘ebikoola bya tithonia okuvaako omukka ogugoba ebiwuka ebyonoona ensigo.

Kozesa enkola ezigobererwa mu nnima ennungi nga okusaanyawo ebibala ebigudde, okuziika ebibala mu ekinya ekiweza obuwanvu bwa 50cm okusobola okutta ebiwuka ebyonoona ensigo ebiba bikuze. Ng‘omaliriza kunganya ebibala byonna ebigudde lwakiri omulundi ggumu mu wiiki era osalire emiti okukendeeza ku bunyogovu obuvirako okukula kw‘ebiwuka ebyonoona emiyembe.

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:57Emiyembe by‘ebibala ebisinga okwettanirwa ennyo ate era nga givamu ensimbi nnyingi.
00:5801:58ekiwuka ekyonoona ensigo y‘omuyembe eskivirako okwonooneka kwe kikakkampa n‘ensigo.
01:5902:38Obulamu bw‘ebiwuka ebyonoona ensigo z‘emiyembe. Ebiwuka ebikulu bibeera mu bikakkampa by‘emiti. Birya miyembe gyokka era biwangaala nnyo nga tebiridde.
02:3903:12Ebiwuka ebikulu bidda mu matabi okunoonya emmere n‘okuwaka. Bibiika amagi wakati w‘ennaku 3 ne 4 oluvanyuma lw‘okuwaka.
03:1303:33Oluvanyuma lw‘ennaku 3 ne 5 bibiika amagi era ne gafuuka obusanyi.
03:3404:48Ebiwuka ebikulu bifuluma n‘ebinoonya aw‘okwekweka. Tebiteera kubuuka.
04:4905:31Okuziyiza ebiwuka ebyonoona emiyembe. Faayo nnyo ku bitonde ebyonoona ebirime mu nnimiro y‘emiyembe.
05:3207:00Kozesa omutego ogukwatira. Era ofuyire ng‘okozesa eddagala eritta ebiwuka.
07:0108:03Fuba okwaza weaver ants mu nnimiro y‘emiyembe. Yokya kawunyira n‘ebikoola bya tithonia.
08:0409:17Kozesa enkola ezigobererwa mu nnima ennungi. Londa bulijjo era osaanyeewo ebibala ebigudde.
09:1809:41Ziika ebibala ebiba byonooneddwa akawuka mu kinya kya buwanvu bwa 50cm.
09:4210:13Kunganya ebibala lwakiri omulundi ggumu mu wiiki era osalire emiti.
10:1812:08Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *