Emitendera mu bulimi kitw’alilamu buli muntu akola okusobola okujja ekirime ku mulimi eyakirima okutuusa kw’oyo omuntu agenda okukirya. Buli muntu mu mitendera gino w’amugaso.
Omulimi bw’akozesa ensigo ez’omutindo omubi, n’afuuyira neddagala ery’alayisi ate era nga ly’abutwa nga waliwo okulumbibwa kw’ebitonde eby’onoona ebirime, era bw’akungula kasooli, talongoosa n’akukaza, talongoosa nakutereka kasooli bulungi ate era n’agatta amayinja munsawo okusobola okuzizitoya, afuna sante ntono okuva kumusuubuzi bw’atunda ebirime bye olw’omutindo omubi ogw’ebirime bye.
Abasuubuzi n’abakubi
Omusuubuzi bw’atunda kasooli eri oyo amukuba mu kyuuma, n’omukubi awa omusuubuzi omuwendo ogguli wansi era omusuubuzi takola magoba gonna. Omukubi alongoosa, akaza era n’akuba obuwunga mu kasooli. Omuguzi agula obuwunga n’atwaala awaka naye ate abenganda tebasanyukira mpooma y’akawunga era kaleka abamu ku baana nga balwadde. Kino tekiyina gwekireka mumitendera gino nga musanyufu.
Omutindo gweyongera
Naye ate omulimi bwagula ensigo nga y’amutindo era n’akozesa eddagala etuufu mukufuuyira, afuna amakungula mangi ate era bwakaza kasooli, awewa era n’amutereka bulungi n’asalawo okumutunda n’abalimi abalala oluvanyuma lw’okunoonyereza bulungi kubutale, afuna emiwendo emirungi okuva ku musuubuzi. Omusuubuzi naye aguza kasooli omukubi ku muwendo omulungi naye n’amukubamu akawunga kaguza abakyaala bangi kumiwendo emirungi, abakyala bafumbira abenganda z’abwe emere era buli omu aw’omerwa emere. Wano buli muntu mu mitendera gino abeera musanyufu.
Kino kisoboka singa enkola ennungi mukulima zigobererwa, okutambuza, okutereka wamu n’okwongera omutindo, abalimi, abasuubuzi wamu n’abakuba nga bakoledde wamu okuzimba enkolagana era nga bamanyi bulungi ebifa mubutale.