Omuceere ogw‘enjawulo gusobola okugumira amazzi g‘ebbitaba okumala ebanga lya wiiki bbiiri. Woba obeera mu biffo ebirimu amazzi g‘ebitaba, saba omukulembeze w‘ekituundu kyo ensigo z‘omuceere ez‘enjawulo ezisobola okugumira amazzi ganno .
Ebiseera ebimu omuceere gw‘omulutabazi gw‘ononebwa nnyo amazzi ganno . Amazzi agalegamye galwawo okugwawo olwo negatta ebimera . Gabyonoona kubanga gaziyiza ekitangala okuva ku kasana , omuceere gwekyetaaga. Amazzi ganno agalegama wegakeendera , abalimi abasinga balina okuzza enimiro zabwe obujja. Naye basobola okusanga obuzibu mukufuna ensigo , ebijimusa ,n‘abayambi.
Ebitundu ebirimu amazzi g‘ekitaba.
Woba obeera mu kifo ekirimuamazzi g‘ekitaba , simba ensigo z‘omuceere ez‘enjawulo ezisobola okugumira amataba. kakasa nti ensigo zinno namu era nga tezirina buwuka na ndwadde. Oluvannyuma lw‘okukungula ensigo zinno zikaze nga weyambisa omusana , zirongose era ozikuumire mu nnyumba yo. N‘olwekyo kozesa akakutiya aka nayironi nga kateekeddwa mu kakutiya k‘ekigogwa.
Kakasa nti okozesa ensigo ennungi nga zisobola okuguumira amazzi. Tosimba nsigo nyingi , kubanga zija kuba ntonno ate nga nnafu olwo zononebwe mangu amazzi g‘ekitaba . Bulijjo w‘osimba ekipiimo kya kiro bbiri , simbawo kitundu kya kiro kyoka. Olwo endokwa zijakusobola okugumira amataba ganno okumala ennaku kumi ku kumi nattaano.
Endokwa eza wiiki ennya ziba ngumu okusinga endokwa eza wiiki essattu. N‘olwekyo, simbuliza endokwa ezo ezirabika ng‘enkulu.
Ekitaba ky‘amazzi wekiba kikendde , ebisooto byebisigalira. Ebisooto binno bikwatira ku bikoola by‘omuceere ekiziremesa ekimera kino okusa n‘okufuna ekitangala ekiva ku kasana. Kyamugaso nnyo okuba omwegendereza ng‘ojako ebisooto . Era kakasa nti ajawo amazzi gonna agasigalira, omuddo,ne kasasiro yenna aleetebwa amazzi ganno agalegama.
Enimiro tojiteekamu kirungo kya urea amangu ddala nga amataba gawedde, kino w‘okikola omuceere gujja kuvunda . Oluvannyuma lwa wiiki emu nga amazzi g‘ekitaba gamazze okukendeera ,ebimera bisobola olulama n‘okufuna ebirungo ebipya. Awo osobola okwongera mu kiro 40 ez‘ekirungo kya Urea mu buli yiika nnya ne kiro 40 ez‘ekirungo kya potasssium ekijimusa .Oluvannyuma lwa wiiki bbiki era gatamu kiro 40 ez‘ekirungo kya Urea naye toyongeramu ekijimusa kya potassium.