»SLM07 Ebinnya ebiregamya amazzi ng‘osimbye ebirime«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/slm07-demi-lunes

Ebbanga: 

00:07:27

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Countrywise Communication, CIS Vrije Universiteit Amsterdam
»Ebinnya ebiregamya amazzi ng‘osimbye ebirime bikolebwa mu kitundu ky‘omwetooloolo n‘obusongezo ku nsalosalo. Bijjira mu bugazi bwa njawulo, ekiyamba mu kukungaanya amazzi mu bifo ebirina embeera z‘amalungu. Biyamba okwongera ku bugimu bw‘ettaka ng‘ebigimusa oba nnakavundira bigattiddwamu.«

Ebinnya ebiregamya amazzi ng‘osimbye ebirime byangu okukola era nkola ya migaso gya njawulo mu bugwanjuba bwa Africa okuva mu 1980.

Enkola yali nnyangu okutegeera era abalimi baagisanga nga ebasikiriza kuba yabasobozesa okukolera awamu mu bibinja. Ensalosalo y‘esooka okuteekebwawo n‘omudumu gw‘amazzi olwo ettaka ne liteekebwa mu maaso okukola ekitundu ky‘omwetooloolo ng‘okozesa obusongezo ku nsalosalo. Ettaka litemebwa era ttaka ne lirimibwa wabweru era ebigimusa ne bigattibwa mu ttaka.

Ensiga y‘ensigo ennungi

Ensigo z‘omuddo zisigibwa olw‘ensonga nti enkuba bw‘ettonnya mukoka akwatibwa era n‘akuumibwa mu binnya olwo n‘annyikira mu ttaka ekireetera omuddo okukula obulungi. Endokwa zirabirirwa abalimi era n‘eyitibwa enkola ekkirizisa ebimera okumera mu ngeri eyoobutonde nga biva mu nsigo ezaaterekebwa mu ttaka oba okuva ku nkonge z‘emiti naye nga tebisimbiddwa. Ebizibu abalimi bye basanga kwe kubeerawo kw‘ebigimusa ebikolerere mu binnya ebyo.

Embeera z‘obutonde endala

Ebinnya ebiregamya amazzi ng‘osimbye ebirime bisobola okukola ebintu eby‘enjawulo. Byanguya okumeruka n‘okukula kw‘emiti ginnansangwa. Byangu bya okusima ate bisoboka. Bisobola okukozesebwa ku birime, omuddo oba emiti era bifuuse enkola ya tekinologiya eyeesigamwako okutereka amazzi mu bitundu ebiriraanya eddungu Sahara.

Okukungaanya amazzi okuyita mu binnya bino kiyamba okuzza embeera y‘obutonde mu bifo ebirime we byali byasaanyizibwawo ekyeya ekiyamba abantu n‘ensolo okufuna emmere.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:14Ebinnya ebiregamya amazzi ng‘osimbye ebirime oba ekitundu ky‘omwetooloolobyangu okukola era nkola ya migaso gya njawulo
01:1501:46Ensalosalo y‘esooka okuteekebwawo n‘omudumu gw‘amazzi olwo ettaka ne liteekebwa mu maaso okukola ekitundu ky‘omwetooloolo
01:4702:30Ensigo z‘omuddo zisigibwa olw‘ensonga nti enkuba bw‘ettonnya mukoka akwatibwa mu binnya.
02:3103:44Ebinnya bino bikakasiddwa okuba eby‘omugaso oluvannyuma lw‘emyaka mu ngeri ez‘enjawulo.
03:4505:11Enkola ya tekinologiya eno esaasaanye mu bitundu ebiriraanye eddungu Sahara era kati ekozesebwa mu Burkina Faso okuva mu Niger.
05:1205:48Ebizibu abalimi bye basanga kwe kubeerawo kw‘ebigimusa ebikolerere mu binnya ebyo.
05:4906:50Okukungaanya amazzi okuyita mu binnya bino kiyamba okuzza embeera y‘obutonde.
06:5107:27Okusiima.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *