»Ekuteekateeka ennimiro y‘obutungulu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/installing-onion-field

Ebbanga: 

00:11:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-insight
»Obutungulu bwetaaga ettaka egagga nga jjimu. Simba obutungulu bwokka mu myaka esatu munnimiro yeemu. Simba obutungulu ku bbeedi engulimize, naddala mu budde bwenkuba. Simbuliza obutungulu nga buwezezza nga wiiki mukaaga. Simba obutungulu mumabanga ga sentimita 10. Buli lwowa endabirira ennungi obutungulu, bujja kukuwa endabirira ennungi«

Obutungulu bulina emirandira egyetaaga okwegendereza ennyo. Ennimiro y‘obutungulu yeetaaga ettaka eggonvu mu sizoni y‘omusana n‘enkuba. Kyeetaaga enteekateeka ye‘nnimiro entuufu n‘okulabiririra endokwa okwongera kumakungula. Kulw‘ennimiro ennungi teekateeka bbeedi ate osimbulize bulungi.

Okuteekateeka ennimiro

Noonya ettaka eriwumudde okumala emyaka esatu ngatekulimwabutungulu. Wabula wewale ettaka ly‘omusenyu n‘ebbumba olwokuba triba ggimu. Gonza ettaka ng‘oligimusa n‘ekisembayo tosimba kuttaka lyattosi naddala sizoni yenkuba okugema okuvunda kw‘emirandira. Ffuukirira ennimiro enkuba bweba yabbula osobole okukakanya ebugumu muttaka. Gulumiza bbeedi mu bugazi bwa mita emu ku lwokukulukuta obulungi okwamazzi n‘obugazi bwawo w‘okolera. N‘ekirala ggonza ettaka ogattemu obusa, bwomala bbeedi kulwokukula kw‘emirandira.

Endabirira y‘endokwa

Kendeeza okufukirira nga tonnasimbuliza okwongera kukugumya kw‘ekirime, ffukirira ebirime era weeyambise ebyeyambisibwa mukufukirira ebituufu, bwoba osimbuliza wewale okukosa emirandira. Kakasa nti otambuliza ensigo mu nawo empeweevu okuzikuuma nga nnamu. Wumula ekituli mukakutiya mumabanga amatuufu okusobozesa ebikoola n‘emirandira okukula obulungi. Ffukirira ebimera ngomaze okubisimbuliza okuziyiza okukala, koola era osseeko ebigimusa ebigule wakati w‘ennyiriri z‘ebirime okuziyiza okuvuganya n‘okwongera obugimu bw‘ettaka. Nekisembayo gattamu nnakavundira aluddewo okwongera kubulamu bwe‘ttaka.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:44Obutungulu busobola okusimbibwa mumusana ne munkuba
00:4501:16Bulina emirandira minafu nnyo egyetaaga okwegendereza era weetaaaga ettaka eggimu nga ggonvu.
01:1701:59Londa ettaka.
02:0002:40Londa ennimiro egimu.
02:4103:31Wewale ettaka ly‘omusenyu ne lyebbumba.
03:3204:07Tosimba kimera mu bikko birimu ttosi mu sizoni yenkuba.
04:0804:44Ffukirira ennimiro singa enkuba eba yabbula.
04:4505:11Ggulumiza bbeedi y‘ebimera ey‘obugazi bwa mita emu.
05:1205:42Ggona ettaka era ogattemu obusa.
05:4306:29Simbula endokwa ngaziwezezza wiiki mukaaga.
06:3006:57Tobya bbeedi ng‘ogifukirira.
06:5808:56Wummula ekituli mumabanga amatuufu mukakutiya.
08:5709:38Kakasa ng‘okoola era ssaako ebigimusa ebigule wakati w‘ennyiriri.
09:3909:53Gattamu nnakavundira aluddewo.
09:5411:40Okufundikira.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *