Okulunda enjuki kuyamba okwongera ku nnyingiza ku ffaamu noolwekyo olw‘okweyongera kw‘omubisi ogufunibwa, abalunzi bateekwa okulambulanga emizinga wamu n‘okuwakula okutuufu okw‘omubisi okufuna ebivaamu eby‘omutindo.
Waliwo obubonero obuyamba abalunzi okuzuula enjuki ezituuse okuwakula, nga mu bubonero buno mulimu, okusuula kw‘ebimuli n‘ebikoola mu bimera, okwengera kw‘ebibala, okukula kw‘ebintu ebirala ku ffaamu, okufa kw‘enjuki ensajja mu kibinja, okukendeera kw‘okuzunga mu muzinga emizinga gifuuka mizito. Okwongerezaako, okulambula emizinga okwa buli lunaku kuyamba okulondoola enkyukakyuka mu mizinga, okukebera obulumbaganyi obuva ku biwuka n‘ebirala ebitawaanya enjuki n‘okuzuula enjuki ezituuse okuwakula.
Ebisinziirwako mu kukolebwa kw‘omubisi gw‘enjuki
Emmere w‘eva, okubeerawo kw‘ebimera ebimulisa okwetooloola omuzinga kyongera ku kukolebwa kw‘omubisi gw‘enjuki.
Okwongerezaako, obunene bw‘ekibinja ky‘enjuki, ekibinja gye kikoma okubeera ekitono era bwe butono bw‘omubisi ogukolebwa n‘ekibinja gye kikoma okubeera ekinene n‘omubisi gye gukoma okuba omungi.
Era n‘okumulisa kw‘ebimera mu kitundu, ebimera ebimulisa omwaka gwonna byongera ku kukolebwa kw‘omubisi gw‘enjuki okusinga ebyo ebimulisa emyezi esatu ku ena mu mwaka. .
Obusobozi bw‘enjuki okutereka omubisi, enjuki ezirina obusobozi bw‘okutereka omubisi zongera ku misinde omubisi kwe gukolebwa okusinga ezo ezitasobola kutereka mubisi.
Emitendera gy‘okuwakula
Tandika na kufuna muntu gw‘onoowakula naye era oyambale olugoye oluwanvu n‘ekinyookeza okwekuuma okulumwa kw‘enjuki.
Olwo otegeke omukka ogunyooka nga tokozesa bya ppulasitiika oba eby‘obutwa anti bino biyinza okukendeeza omutindo gw‘omubisi.
Okwongerezaako, mpolampola bikkula ekisaanikira ky‘omuzinga, weewale okuwakula ebiyumba ebirimu ebyana okwewala okuwakula ebyana ebirina obusobozi bw‘okufuuka enjuki.
N‘ekisembayo, okuwakula kulina kukolebwa mu biyumba ebirina ebitundu bisatu byakuna ebijjudde omubisi era towakula mubisi gwonna okuva mu muzinga okwewala okusenguka kw‘enjuki.