Ennyaanya zezimu ku birime ebyangu okulimibwa kubanga zisobola okutekebwa ko ebigimusa n‘eddagala eritta obuwuka nga zakammeruka.
Nga tonasimba ,oyina okusooka okutabula ebigimusa n‘obuwunga bwa humi powder obuyamba mu ku kukuuma ebirungo.Newankubadde obulimii bw‘ennyannya bulimu okusoomozebwa kungi okuli ebitonde ebizonoona n‘obulwadde;zettanirwa nnyo abalimi olw‘okubanti abalimi baziteekamu sente neziza amagoba ate era tezetaaga bakozi bangi.
Endabirira
Fuyira ennyaanya zo pakka nga zitandise okuleeta ebibala.Kino kikolebwa kityo kubanga ebirime webiba bireese ebibala biba by‘etaaga amazzi mangi.Salako obutabi bw‘ebbali,obukoola obukadde n‘obwo obuba bulwadde kino kikole buli wiiki.
Jjako endu eziba zikulidde wakati w‘aamatabi kubanga ezo tezimmerako bibala wabula zitwala amannyi n‘ebirungo okuva ku kiriime.Ennyaanya ziwanirire nga nga wakazisimbuliza osobole okwewala amatabi okugakosa.
Obuwangazi bw‘ennyaanya
Bulijjo ennyaanya tuzireka nezikula okutuusa nga zikyusiza langi okuva mu kiragala okudda ku langi ya zaabu.Olwo ziba zituuuse okukungulwa.
Ennyaanya zimulisa nga ziri mu mwezi gumu n‘ekitundu.Ku myezi ebiri,zitandika okumulisiza ddala era ziteekebwa ko ebigimusa buli luvannyuma lw‘omwezi.
.Ennyaanya eziba zaasooka okumulisa okumulisa mu myezi essattu ziba zituuse okukungulwa.
Okwewala ebitonde eby‘onoona ennyaanya
Obulimi bw‘ennyaanya busomoozebwa nnyo ebitonde ebyonoona ebirime awamu n‘obulwadde obuyitibwa tuta absoluta obukwata ebikoola.Okufuuyira ennyaanya nga tweyambisa eddagala eritta obuwuka kiyambako okubyewala.
Obulwadde bw‘ekibabuko mu nnyaanya nabwo buzibu bulala abalimi bwebasanga wabula bunno busobola okwewalibwa nga ennyanya ozifuuyira eddagala eritta obuwuka mu wiiki esooka n‘eddagala eritta obuwuka obuleeta obulwadde(fungicides) mu wiiki ey‘okubiri.