Okuyiga emitendera mwoyinza okuyita okungula kasooli nokumanya obudde obutuufu mukukungulira byebigenda okutuwaamakungula amalungi.
Omunwe gwakasooli guba gwengedde singa ebikoola nebikuta ebibikka omunwe biba bifuuse byakyenvu. Ekirala enviiri eziba kumunwe zitandika okugwa wansi. Bwonyiga ennyo nengalo zo kukasooli ayengedde teri kabonero kasigala ku kasooti nti obadde omunyize.
Tolindiriza nnyobwolaba obubonero obwo wagulu kubanga okulwawo ennyo kuletera ebiwuka okulumba kasooli.
Emitendera omuyitwa okukungula
Ngatonnakungula kasooli, sitoowa nebikozesebwa mu kukungula kasooli biyina okuba ebikalu, biyonjo ate nga bikozeseka. Bwekitaba ekyo noonya ebisobola okukola mu kifo kyabyo mu bwangu.
Kasooli bwaba akuze osobola omunuula, bwoba wasimba kasooli owembala ezenjawulo tandika ne kasooli owembala osembyeyo owaffe owabulijjo agumira ebiwuka.
Kasooli munuulire munnimiro oleme kuleeta biwuka waka. Ngomutuusiza (kasooli) ewaka mulonde okukakasa nti kasooli gwogenda okutereka mulamu. Eminwe emifu gyokye.