Omuceere kirime ekirimwa mubitundu ebirimu omusana era nga kikulira mubifo omulegama amazzi era nga kyetaaga ebbugumu lya 20-30 degrees ku ttaka ery’omuseetwe. Mungeri endala omuceere gw’okulukalu tegwetaaga kukabala nga bwokuba amafunfugu.
Kiyina okutegerebwa nti omuceere gw’okulukalu gukula mangu era tegwetaaga nteekateeka ya ttaka y’amaanyi ekitali kw’ogwo ogulimwa mukiwonvu newankubadde nga kisaanye okulima omuceere ku ttaka lye bbumba kubanga gwetaaga amazzi mangi ate nga ettaka lye bbumba liyina obusobozi bw’okutereka amazzi. Emitendera mukukula kw’omuceere ejenjawulo gy’etaaga amazzi mungeri yanjawulo omuceere nga gwakamera gwetaaga amazzi ago agamala mukukula naye amazzi mangi getaagibwa nga omuceere gukuliddde ddala okwongerako ebitundu ebitayina enkuba entono kozesa ekika ky’omuceere ogulimwa ku lukalu.
Enkola ezisaanide
Sooka olongoose enimiro, zimba ebidiba egikozesebwa mukukuuma amazzi olwo okabale lima era oteme emyaala okusobola okutangira okukalira kw’amazzi, kyanguya mukusimbuliza, kikendeeza mu kukula kw’omuddo, era n’okutwaala omukka omulamya mu ttaka ely’okungulu.
Mukugattako tangira enddwade ez’amaanyi nga blast, brown spots ne green discolouration okuyita mukukozesa ensigo ezitamala galumbibwa birwadde bino, enkola ennungi okusobola okumalawo obuladde bwa blast rust, kendeeza ku kukozesa ekirungo kya nitrogen ekirimu ekirungo kya potassium okusobola okukendeeza ku kulumbibwa kwekirwadde kya blast, kozesa ensigo ennyonjo ezitekedwaamu eddagala okutangira obuwuka obw’onoona ensigo era n’ensigo wezirumbibwa amangu enddwade eziretebwa obuwuka obusirikitu obwa fungi fuyira nga weyambisa eddagala erikulagibwa.
N’ekisembayo abakozi bwebabeera nga babeeyi kozesa enkola y’okumansa ensigo naye kiyinza okuziyiza okumeruka singa ensigo eggwa ku ttaka eddala olwebula ly’omukka omulamya ekitafaananako nga abakozi balayisi nga weyambisa emikono simbuliza naddala kumuceere ogulimiddwa mulutobazzi kozesa amabanga ga 30x30cm okuziyiza okumera kw’emiddo n’okuziyiza okumeruka kwamatabi amalala.