Soya kirime ekigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka ekikulira wakati wa sabbiiti kumi na nnya(14) n’ekumi nomukaaga (16). Enkungula enungi, okutereka byongeza omutindo gw’empeke era nekikendeeza okufirwa oluvanyuma lwamakungula.
Wabula, okukungula ku makya ennyo, kumasoya okuva eri enkuba, ebisolo ate era n’emirandira negisigala mu ttaka nga tewali bisigalira bisuilidwa wadde okwokyebwa kubanga binno bikozesebwa nga emeere y’ebisolo wamu n‘okweongera obugimu n’ebirungo by’omuttaka.
Okukungula n’okutereka
Kukungula nga eminyololo gikuze negifuuka egya kitaka era nga empeke zinyenya okwewala okwatika n‘okusasaana kwempeke.
Soya mukazze nga bwomukuuma okuva eri enkuba, ebisolo ate era nga tali wansi ku ttaka okusobola okwongeza omutindo gw’empeke egulwa ebbeeyi eyawaggulu ko.
Kuba/ssusa mpolampola nga wewala okwonoona empeke era oluvanyuma ozikalize awantu awayoonjo
Wewa soya, jamu empeke ezimenyese, nezo ezitafanagana zinaazo era omukaze okumala enaku 3.
Empeke ziteeke mu kutiya oba ensawo enyonjo, wamu ne sitoowa enyonjo ate era ekuttiya tozituuza kuttaka oba wansi okuziyiza ebiwuka okuyingira mu.
Sitoowa jiyonje era ensingo ogikumire waggulu ate nga tezikoonye ku bisenge okwewala obukuku.
Keberanga ojjemu ensingo/empeke ezikwatibwa obuwuka oba ezivunze kireme okukendeeza kw‘omutindo gw’empeke endala ezisigadde.