Katungulu ccumu y’etaaga abakozi batono wamu ne sente, wabula obw’etaavu bwe buli waggulu ate nga afuna nnyo. Katungulu ccumu akulira mumbeera zobudde nyingi ezenjawulo.
Katungulu ccumu asimbibwa na mpeke era akungulwa wakati wennaku 135-150 oluvanyuma lw’okusimba. Bulijo ebikoola by’akatungulu ccumu byebifuuka kyenvu ekyo kiraga nti ekimera kituuse okukungula. mumbeeera ey’abulijo katungulu ccumu asinga kwagala bugumu lyakigero, ettaka egimu eliddugavu, ely’olusenyusenyu oba ely’ebumba kuly’okukula obulungi.
Okusimba
Bwoba osimba katungulu ccumu kozesa kilo 150-200 ez’empeke enamu obulungi okusiga ku yiika kumi nannya era okusiga kuyina kukolebwa mu nyiriri. Era empeke ziyina okusimbibwa kubuwanvu bwa cm 5.5-7.5 nga oludda olumera lutunude waggulu mumabanga ga cm 15 era obikeko ettaka tono. Mukweyongerayo, okusimba kuyina kukolebwa mumweezi gw’omukaaga okutuusa mugw’omusanvu oba ogwekumi okutuusa mugwekumi n’ogumu munyiriri zamabanga ga cm 15 era ofukirire kitono.
Ebigimusa n’okufukirira
Mukusooka, teeka kilo 20,000 zannakavundira omulungi mubuli yiika kumi nanya okwongeza kubugimu bwettaka. N’oluvanyuma, teeka kilo 60nez’ekigimusa kya NPK mubuli yiika kumi nanya era ennaku 30 oluvanyuma lw’okusimba teekamu kilo 10 ez’ekigimusa kya borax mubuli yiika kumi nanya okusobola okw’ongeza kubunene bwempeke. Kakasa nti ofukirira enimiro mangu ddala oluvanyuma lw’okusiga era tangira emiddo nga ogikuula nengalo. Nekirala, wetegereze ebiwuka n’enddwade era n’oluvanyuma lw’okukungula katungulu ccumu mukuumire mukisiikirize okumala ennaku 2-3. Ekisembayo jako ebikoola ebikalu, longoosa, ssunsula era osengeke katungulu ccumu.