Okulima kkaloti mu ngeri ekola amagoba (ekitundu ekisooka)

0 / 5. 0

Ensibuko:

Ebbanga: 

00:06:52

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AgricConnect Ghana

Kkaloti zikosebwa mangu omusana oba ebbugumu eringi. Kyokka ate n’ebbugumu ettono ennyo erikka wansi wa ddiguli kkumi lireetera kkaloti okubala nga butono ate nga buwanvuyirivu.

Okwongerezaako, kkaloti zirina okuterekebwa mu kkuleeti zaazo mu kifo ekiyingiza wamu n’okufulumya obulungi empewo okuziyiza kkaloti ezo okuvunda awamu n’okukukula. Era okufuna amakungula amangi ddala, kkaloti zeetaaga ettaka eritalegamya mazzi, ery’olusenyu era eritali lya lunnyo. Okwongerezaako, ennimiro za kkaloti zirina okubeera mu bifo ebituukamu omusana, era ebirimu ekisiikirize ekitonotono, wamu n’ebbugumu erisaanidde nga liri wakati wa ddiguli kkumi na mukaaga n’abiri mu ennya. Waliwo ebintu eby’enjawulo ebyetaagisa mu kutandika ennimiro ya kkaloti. Mu bino mulimu; ettaka, ensigo n’ebigimusa.

Okulima kkaloti

Tandika na kuteekateeka ttaka. Mu kusimba, simba ensigo zokka ezikakasiddwa mu binnya bya buwanvu bwa mmirimita mukaaga era ebinnya ebyo obiwe amabanga ga ssentimmita ttaano, oluvannyuma ensigo ozibikke n’ettaka ettonotono.

Oba, osobola okusiga ensigo nga ozimansa bumansa mu nnimiro, wabula, kino kifuula enkola y’okutangira omuddo mu nnimiro okubeera enzibu. Okwongerezaako, bikka ennimiro ya kkaloti okukuuma obuweweevu oba luyite oluzzizzi olubeera mu ttaka, teekamu nnakavundira nga tonnasimba.

Endabirira n’enkungula

Bulijjo fukirira ebimera ku makya n’akawungeezi wamu n’okubikka ennimiro okukuuma oluzzizzi olwomuttaka. Era teekamu nnakavundira oluvannyuma obikke n’ebikoola by’ekinazi okukuuma ettaka nga ggweweevu. Weewale omusana okwaka mu nnimiro obutereevu era olabe nga ensigo tezaatika mu kuzifukirira. Okwongerezaako era, fukirira endokwa mpola mpola era oggyemu ebifunfugu okwanguyiza ku kumeruka kw’ensigo. Ekisembayo, okukungula oba okuzikuula kulina kukolebwa nga wayise emyezi ebiri oba esatu bukya nsigo zisimbibwa, nga emirandira giwezezza obugazi bwa ssentimmita ssatu.

Ebitonde ebitawaanya ebirime awamu n’endwadde

Ebiwuka ebireeta ekigenge ebiyitibwa aphids. Bino bisangibwa wansi ku bikoola, bireeta okukona mu birime wamu n’okwengera kw’ebikoola. Bisobola okutangirwa nga okozesa ensigo eziyinza okubigumira awamu n’eddagala eritta ebiwuka. Okwongerezaako, kawuukuumi wa kkaloti asobola okutangirwa nga oggyamu ebitundu by’ebirime ebiba bisigalidde omu nnimiro wamu n’okuyita mu kukyusakyusa ebirime by’olima mu nnimiro emu. Nga twongerezzaako, obulwadde obuyitibwa leaf blight buleetera ebikoola okwengera era buziyizibwa na kukozesa ddagala eriwonya olukuku. Era waliwo obulwadde obuvunza emirandira obuyitibwa black root rot nga buva mu kukozesa nnyo nnakavundira. Ekisembayo, bwe bulwadde obuleeta ebiba ebya kyenvu wansi ku bikoola nga buyitibwa downy mildew era buno butangirwa na kuwa birime amabanga agamala wamu n’okukyusakyusa ebimera ebirimwa mu nnimiro emu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *